TOP

Police ne Express zisisinkanye mu Uganda Cup

By Hussein Bukenya

Added 7th February 2019

NGA baakamala okukwatagana mu liigi, Police n’ekuba Express ggoolo 2-0, akalulu ka Stanbic Uganda Cup kazzeemu okubasisinkanya mu luzannya lwa ttiimu 16.

Teba 703x422

Ssimwogerere ate ku ddyo, Abdallah Mubiru, atendeka Police.

Mu Stanbic Uganda Cup

Express - Police

Vipers - Kiboga

Young URA - Bright Stars

Proline - Onduparaka

Wakiso Giants - Tooro

BUL - Bukedea Town

Kitara - Kyetume

Nebbi Central - Nkambi FC

Police okukuba Express ku Mmande e Wankulukuku kyaviiriddeko abawagizi okucoomera omutendesi Kefa Kisala, era oluvannyuma yagobeddwa n'asikizibwa George Ssimwogerere.

Akalulu kaakwatiddwa eggulo ku kitebe kya FUFA e Mengo, nga Express y’egenda okukyaza e Wankuluku wakati wa February 14 ne 19. Ssimwogerere yagambye nti kikafuuwe Police okuddamu okubakuba kubanga ttiimu egenda kubeera ya njawulo.

“Nabad- dewo nga Po- lice etukuba, naye nagirabye nga nnyangu okuwangula, era bajje nga bakimanyi nti bazannya gwa kutuusa luwalo,” Ssimwogerere bwe yategeezezza. Express okutuuka wano yawanduddemu Water ku ggoolo 2-1 e Wankulukuku, sso nga Police yaggyeemu Calvary.

Express baasemba okuwangula ekikopo kino mu sizoni ya 2006/7.

Mu mirala, Vipers yaakuzannya Kiboga Young e Kitende, ate URA ettunke ne Bright Stars e Namboole.
 
KCCA, abawandulwa Tooro United, be bakyampiyoni b'empaka Ssimwogerere zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...

Langa 220x290

Owange mmuweweeta ku katto k’abakyala...

SHARON Arinitwe w’e Kosovo: Owange mmukwata mu matu n’okuweeweeta ku mutwe gwa mutaka nga bwe mmukomberera okuva...