TOP

USPA esiimiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 7th February 2019

Freddie Ssekitto, omu ku baatandikawo ekibiina kya bannamawulire abawandiika ag’emizannyo, ekya Uganda Sports Press Association (USPA), asiimye bamusaayimuto abakiddukanya olw’okukyusa akabonero. Ssekitto yagambye nti kano kabonero akalaga enkulaakulaana.

Nyege 703x422

Kanyomozi ng'akwasa Ssekitto essaati ya USPA.

Yabadde ku wooteeri ya Imperial Royale, mu lutuula lwa USPA owa buli mwezi, 'Nile Special - USPA Monthly Meeting', gye baalondedde omuddusi Joshua Kiplimo ku buzannyi bwa January.

Kiplimo yasiimiddwa okuwangula zaabu mu misinde gy'ensi yonna mu Yitale ne Spain.

Yavuganyizza n’abazannyi ba Chess abaawangudde emidaali gya feeza mu mpaka ez'enjawulo.

Maria Nakanyike yawangulidde mu mpaka z’abato ba Afrika ezaabadde e Bwebajja ate Penninah Nakabo yabadde mu za Afrika e Namibia.

Mu lutuula luno, USPA era baavumiridde abawagizi ba kiraabu abasiiwuuka empisa ne bakuba bannamawulire n’abakulembeze abalala.

Gye buvuddeko, aba Villa baalumbye omwogezi wa Vipers Abdu Wasike, ne Muzamir Mayiga, owa Bukedde Fa Ma Embuutikizi.

Pulezidenti wa USPA, Patrick Kanyomozi yagambye nti omukolo gw’okutikkira abazannyi abaasukkuluma mu 2018 gwa mwezi gujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...