TOP

Kabale yeekwasizza ng'ewanduse mu za yunivasite

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2019

Kabale yeekwasizza ng'ewanduse mu za yunivasite

Got2 703x422

Bya Gerrald Kikulwe

Egy’okusunsulamu

GULU 1-0 MUNI (6-0)

Nkumba 3-0 Kabale (5-1)

KIU 1(2)-1(1) Makerere (1-1)

TTIIMU ya Kabale University etunuulidde ebikalu ku Kisaawe kya Nkumba Entebbe bwe yazze ng’enoonya ggoolo 1 okudda mu kibalo ate ne bagikuba 3-0, omutendesi ne yeekwasa obukoowu bw’olugendo.

Guno gw’abadde mupiira gwa kusunsulamu ttiimu 4 ezineegatta kw’ezo 12 ezaakola obulungi mu Pepsi University League sizoni ewedde era nga kati Nkumba, IUEA ne Gulu z’amaze okukakasibwa okwesogga ebibinja bya sizoni empya 2019 etandika ku lwokuna lwa wiiki ejja.

Hakim Nuwagaba atendeka Kabaale agamba nti baabadde basobola okufuna obuwanguzi naye abavubuka baakoyedde mu bbaasi ate bwe b’atuuse tebaafunye budde butendekebwa naye ka baddeyo beetereeze bakomewo sizoni ejja.

Nga tulindirira okusalawo okuva mu kakiiko akakwasisa empisa mu liigi eno ku mupiira gw’okuddingana ogutaggwa wakati wa Makerere University ne KIU okufuna ttiimu eyokuna, ekibiina ekiddukanya liigi eno ky’asazeewo okukwata obululu bw’ebibinja bya sizoni eno era kati ttiimu 15 zimanyi we zigwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...