TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Soroweni akuutidde abaserikale ba poliisi ku mize emibi

Soroweni akuutidde abaserikale ba poliisi ku mize emibi

By Moses Kigongo

Added 11th February 2019

Omumyuka w'akulira ekitongole kya poliisi, AIGP Andrew Soroweni atongozza okukola dduyiro n'akuutira abaserikale okwewala emize emikyamu.

Policeweb 703x422

Sorowen (awanise omukono) ng'ayogera eri abaserikale ba poliisi. Ku kkono ye Oyebode ne Nganizi

OMUMYUKA w’akulira ekitongole kya poliisi, AIGP Andrew Sorowen, alabudde abaserikale okukomya omuze gw’okunywa enjaga, omwenge ne sigala, bwe babeera nga baakusigala ku mirimu gyabwe nga bakuuma abantu n’ebintu byabwe.

Sorowen yabadde ku mukolo gw’okutongoza enkola y’okukolanga dduyiro, abaserikale ba poliisi gye baatandisewo buli wikeendi, n’ekigendererwa ky’okukuuma emibiri gyabwe nga giri fiiti, era n’asuubiza okugibunyisamu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

 bamu ku baserikale nabantu ba bulijo nga bakola dduuyiro ku kisaawe kya yadondo ugby rounds ku womukaaga Abamu ku baserikale n'abantu ba bulijo nga bakola dduyiro ku Kyaddondo Rugby Grounds ku Lwomukaaga.

 

 

Omukolo guno gwabadde ku Kyaddondo Rugby Grounds e Lugogo, era gwatandise ne dduyiro eyeetabiddwamu abapoliisi abaakulembeddwa Wesley Nganizi (aduumira poliisi ya Kampala North) n'abantu ba bulijjo abakulembedwa Solomon Oyebode, owa kiraabu ya ' My Life, My Health',  abaakuliddemu enteekateeka y'okutendeka abaserikale.

Oyebode yeebaziza  poliisi olw'enkolagana ennungi gye balina n'abantu ba bulijjo eyabasobozesezza okukolera awamu ng'agamba nti kino kyakubongera okulwanyisiza awamu obumenyi bw'amateeka mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...