TOP
  • Home
  • Mupiira
  • 15 zikakasizza okwetaba mu mpaka za yunivasite

15 zikakasizza okwetaba mu mpaka za yunivasite

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Ttiimu 15 zikakasizza okwetaba mu PEPSI University League, Makerere ne KIU zirinda biva mu kakiiko ku ffujjo eryali mu kisaawe

Yunivasiteweb 703x422

Patrick Ssebuliba (ku ddyo), atendeka Nkumba ne Florence Nakamya, omuwandiisi wa liigi ya Yunivasite

Bya GERALD KIKULWE

TTIIMU 15 zikakasizza nga bwezigenda okwetaba mu mpaka za Pepsi University League sizoni eno.

Ku mulundi guno, ttiimu ennya ezaakeegatta ku liigi eno, n'ennya ezaakoobera mu bibinja sizoni ewedde, zaasoose kwezannya okusalawo eziyitawo okwesogga ebibinja bya sizoni eno.

Yunivasite ya International University of East Africa (IUEA), Gulu ne Nkumba ze zaayise mu kakug’uunta okwegatta ku Kyambogo (bakyampiyoni) b’omwaka oguwedde, Kampala University (KU), MUBS, UCU, Kumi, Busitema, SLAU, IUIU, Nkozi, Bugema, Bishop Stuart  ne YMCA.

Omugatte ttiimu zirina kubeera 16, kyokka akakiiko tekannasalwo kyankomeredde ku mupiira gwa KIU ne Makerere, ogwayiise ku Lwokusatu, ng’entabwe eva ku bawagizi ba Makerere okweyiwa mu kisaawe nga bawakanya peneti za KIU ebbiri.

Makerere yawangula oluzannya olwasooka ku ggoolo 1-0, ate KIU n’ewangula ogw’okudding’ana ku ggoolo ze zimu, olwo eddakiika 90 ne ziggwaako ng'omugatte guli (1-1).

Vincent Kisenyi, omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya liigi eno, yakakasizza nti ng’Olwokuna, empaka lwe zisuubirwa okutandika terunnatuuka, bajja kuba basazeewo ekyenkomeredde ku nsonga eno.

Ebibinja nga bwe byakwatiddwa;

Ekibinja A;  Bugema, Bishop Stuart, Nkumba ne YMCA.

Ekibinja B; SLAU, Gulu, IUIU ne UMU

Ekibinja C; Kyambogo, Kumi, Bisitema ne KIU/Makerere

Ekibnja D; KU, IUEA,MUBS ne UCU

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Segawa1 220x290

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50...

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Abamerika bakubye Trump mu mbuga...

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi...

Wana 220x290

Muto wa Ssemwanga, abadde amansa...

BAAMUTADDE ku mpingu ne bamuggyamu n’engatto, nga toyinza kulowooza nti y’oli abadde amansa ssente mu bbaala z’omu...

Kola 220x290

Ensonga ezaaviiriddeko Muhangi...

HERBERT Muhangi eyali owa Flying Squad yabadde yaakayimbulwa ku kakalu ka kkooti, abaserikale ne baddamu ne bamuyoola...

Kwata 220x290

Bannayuganda e London bajjukidde...

OMUSUMBA wa Kasana Luweero Paul Ssemwogerere akulembeddemu Bannayuganda abali e London mu Bungereza okujaguza emyaka...