TOP
  • Home
  • Mupiira
  • BUL FC eyogedde ekyama ekyagikubizza Express

BUL FC eyogedde ekyama ekyagikubizza Express

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2019

Abazannyi ba BUL FC bategeezezza nti Faaza eyabasabidde mu kutendekebwa ye yabayambye okuwangula Express FC mu StarTimes Uganda Premier League

Bulweb 703x422

Fr. Apile (mu ggaanduula) n'abazannyi ba BUL FC

Bya BRUNO MUGOODA

Ogwazannyiddwa mu liigi

BUL FC 1-0 Express FC

Egizannyibwa ku  Lwokubiri

SC Villa - Paidha Black A

Maroons -  Ndejje University

Bright Stars - Mbarara City

Onduparaka - URA

Tooro United -Vipers

Jinja SSS -  Police

Ku Lwokusatu

KCCA FC -BUL FC

Nyamityobora - Express

OMU ku bazannyi ba BUL FC,  Hakim Magombe,  ategeezezza Bukedde nti omukisa gw’okuwangula Express FC gwavudde mu kusaba kwe baabadde nakwo mu Lwomukaaga.

Ku Ssande, BUL FC yawangudde Express ggoolo 1-0, n’erinnya okuva mu kifo  ekyokutaano, n’edda mu kyokuna ku ttebo. Express ya 10 ku bubonero 21, nga bonna bazannye emipiira 18.

Abazannyi baagenda mu kutendekebwa ku kisaawe kya FUFA  e Njeru  ku Lwomukaaga,  nga tebamanyi nti Rev. Fr. Barry Apile, owa klezia y’e Naminya, y’omu ku bagenda okubalaba.

“Faaza yatusabira,  ekyatuyamba okwongera okwekkirizizaamu, era ffenna twagenze okuzannya

Express nga tetutidde,” 'Magombe, azannya ng’ omuzibizi, bwe yategeezezza. Mugombe ye muzannyi yekka asigadde mu ttiimu ya  BUL FC, eyayingira ‘Super’ mu  2011.

Omucongo Jean Pierre Kambale, ye  yateebedde BUL FC ggoolo y’obuwanguzi, mu ddakiika ezaayongeddwaamu ng’e 90 giweddeko.

BUL FC ekomawo mu nsiike ku Lwokusatu, ng’ekyalira KCCA FC e Lugogo, sso nga Express ezannya Nyamityobora ku lunaku lwe lumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda