TOP

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2019

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Lab2 703x422

 

Bya Gerrald Kikulwe

Uganda Cup(Ttiimu 16) 

Wakiso Giants FC 0(4)-0(2) Tooro United FC   

OMUTENDESI wa Wakiso Giants FC eya Big League Ibrahim Kirya awanduddemu Tooro United FC eya “Super” mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup n’asaabulula ebigambibwa nti bagulirira baddifiri okuwangula. 

Ku lwomukaaga Wakiso Giants yakyazizza Tooro United FC ku kisaawe e Bugembe ne balemagana 0-0 mu ddakiika 90 wabula n’ewangulira ku penati 4-2 oluvannyuma lwa Isa Mubiru ne John Toki Byamukama aba Tooro penati zaabwe okuzikuba mu ngalo za kippa wa Giants Ivan Mutumba. 

Wakiso ye ttiimu yokka etanakubwamu mupiira gwonna bukya Big League etandika sizoni eno ng’eri ku ntikko y’ekibinja kya Elgon n’obubonero 26 wabula b’evuganya nabo bagamba nti okwekuumira ku kkula lino, baddifiri bagibbira wabula Kirya ye bino abiyita byekwaso. 

Wiiki ewedde Faisal Muhammed nannyini JMC Hippos yalaga obutali bumativu ku ngeri gye baali bakulembedde ensiike eyasooka ku ggoolo 1-0, wabula ddifiri n’agabira Wakiso ggoolo ey’ekyenkanyi mu ddakiika ezisemba ne guggwa 1-1.

Kirya agamba nti abalowooleza mu Wakiso okugulirira baddifiri, bali mu kwekwasa kuba kumutendera gwa ttiimu 32 baggyamu Kireka ate kati baggyeemu eya “Super” ekiraga nti obuwanguzi babukolerera.    Ivan Kiweewa, Isaac Ntege, James Kasibante ne Hassan Wasswa Dazo be b’ateebedde Wakiso ggoolo ezaagituusizza ku mutendera gwa “Quarter”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte