TOP

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

By Stephen Mayamba

Added 17th February 2019

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Pak2 703x422

Mutebi (ku ddyo) ng’abuuza ku Moses Basena eyali atendeka Villa (wakati).

PULEZIDENTI wa Nyamityobora, Ying. Ben Misagga n’abalala mukaaga bali mu kattu oluvannyuma lw’olukiiko lwa FUFA olw’oku ntikko okulagira bayitibwe bakunyizibwe ku bigambibwa nti beenyigira mu bikolwa by’okudibaga emipiira.

Kigambibwa nti bano nga bayita mu kwogera eby’ensimattu, n’ebikolwa ebyekuusa ku kugulirira ebirala, baadibaga emipiira egimu, ekintu FUFA ky’egamba nti teyinza kukigumiikiriza.

Mu lutuula ku kitebe kya FUFA e Mengo ku Lwokuna nga lwakubiriziddwa pulezidenti, Ying. Moses Magogo, kyategeezeddwa nti abakungu abamu ku baayitiddwa lipoota eyakolebwa akakiiko akaatekebwawo ku nkomerero ya sizoni ewedde okunoonyereza ku nnamula embi eya baddiifiri n’emivuyo emirala mu liigi ebaluma era balina okunnyonnyola.

Olukiiko lwa FUFA olw’oku ntikko wano we lwasaliddewo okuyita Misagga, Smart Obedi owa Tooro United (eyali Soana), Jimmy Lukwago owa Kira Young n’abalala okuli; Salmin Saleh (BUL), David Were, Geofrey Mulibanga, n’omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi basindikibwe mu kakiiko ka FUFA ak’empisa beewozeeko. Beegattiddwaako kiraabu okuli; Mbarara City ne Tooro United nazo ezinoonyerebwako olw’ebikolwa ebikontana n’amateeka g’omupiira bye zeenyigiramu sizoni ewedde.

Gye buvuddeko, akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa mu mpaka ezitegekebwa FUFA nga kakulirwa Deo Mutabaazi kaakaliga Mutebi emipiira ena n’okumuweesa engassi ya bukadde bubiri lwa kugamba nti ebikopo bya liigi ya ‘super’ mu myaka egiyise, ttiimu zaabiwangulanga lwa kugulirira kyokka nga talina bujulizi ku nsonga eno.

BADDIIFIRI BAYIMIRIZIDDWA;

Mu ngeri y’emu, baddiifiri; Ali Kaddu, Muzamiru Tulu, Ashraf Miiro, Richard Kimbowa ne Ndawula Shaban Mawanda nabo baayimiriziddwa okulamula emipiira oba okukola emirimu gyonna egyekuusa ku mupiira nga bwe banoonyerezebwako ku nsonga y’emu, eyeekuusa ku nnamula embi eyaliwo sizoni ewedde.

Ahmed Hussein, omwogezi wa FUFA yagambye nti akakiiko akakwasisa empisa kakwasiddwa ensonga zonna ezasaliddwaawo okuva mu lipoota era bano bonna kagenda kubayita essaawa yonna bannyonnyole, nga bwe kakola okunoonyereza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte