TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Empaka z'amasomero ga siniya ziyiiseemu kavvu

Empaka z'amasomero ga siniya ziyiiseemu kavvu

By Stephen Mayamba

Added 21st February 2019

Abaddukanya empaka z'amasomero ga siniya basuubizza okulinnyisa omutindo kkampuni ya Fresh Diary bwe bayiyeemu obuwumbi busatu

Masomeroweb 703x422

Abakungu ba kkampuni ya Fresh Diary n'abakulembeze b'ekibiina ekiddukanya emizannyo mu masomero ga siniya, ekya Uganda Secondary Schools Sports Association, nga bali n'abamu ku bayizi ku Lwokuna

EBBUGUMU mu mpaka z’amasomera ga siniya lya kweyongera oluvanyuma lw’okufuna siponsa agenda okugiteekamu kavvu.

Ku Lwokuna, kkampuni y’amata eya Fresh Diary yatongozza enkolagana yaayo n’ekibiina ekitwala emizannyo mu masomero ga siniya, ekya Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA), ku mukolo ogwabadde ku kitebe kyabwe mu kibangirizi ky’amakolero e Bugolobi.

Fresh Diary egenda kuteeka obuwumbi busatu n’obukadde 855 mu mpaka zino okumala emyaka etaano, ekintu Justus Mugisha, omuwanika wa USSSA, ky'agambye nti kyakwongera okulinnyisa omutindo gw’emizannyo mu masomero.

Ye Vincent Omoth, akulira ebya kitunzi mu Fresh Diary, yategeezezza nti kibakakatako okuddiza Bannayuganda olw’okubeebaza okubawagira, sso ng’era baagala okuzimba ebitone kubanga abazannyi bonna abali ku ttiimu z’eggwnaga ez’enjawulo, mu mizannyo egy’enjawulo, bayita mu masomero.

Empaka z’okusunsulamu mu distulikiti zigenda mu maaso,  ng’ezakamalirizo (ez’eggwanga lyonna) zaakubeerayo wakati wa May 4 ne 11, ku Mbale SS.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be