TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa lugendo

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa lugendo

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2019

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

Kabaleeweb 703x422

Cleophas Fiyati, kapiteeni wa Kabale Sharp, ng'akulukuta n'omupiira

Bya GERALD KIKULWE

Mu Big League;

Egizannyiddwa ku Lwokuna

JMC Hippos FC 0–0 Kyetume FC

Kataka FC 1–2 Wakiso Giants FC

Doves FC 2–1 Ntinda United FC

Doves all Stars FC – Light SS FC

Amuka Bright Stars FC 0–2 UPDF FC

Doves all Stars FC 0–1 Light SS FC

Bumate 0-0 Kansai Plascon

Ku Lwokusatu;

Water FC 1-0 Kabale Sharp

OMUTENDESI wa Kabale Sharp FC eya  Big League,  Viali Bainomugisha, abaali bakamaabe aba Water FC bamusuuzizza obubonero 3 ne yeekwasa olugendo olwakooyezza abazannyi.

Ku Lwokusatu, Water FC yawangudde Kabale ggoolo 1-0 mu kisaawe e Wankulukuku ekyakendeezezza emikisa gyaayo okutuuka ku mutendera gwa 'Play offs' kwe yawandukira sizoni ewedde, Paidha Black Angels bwe yagikubira ggoolo 3-0 e Lugogo.

Kyokka Bainomugisha yeegumizza nga bwe kikyasoboka okudda e Lugogo, n’agamba nti  olugendo oluwanvu okuva e Kabale okutuuka e Kampala,  lwe  lwakutudde abazannyi be ne kibalemesa obuwanguzi.

“ Egisigadde tujja kugiwangula,” Bainomugisha bwe yeegumizza.

Water FC eri mu kifo kyamusanvu  n’obubonero 15, emabega wa Kabale Sharp (18), mu kibinja kya Rwenzori, ekikulembeddwa Proline ku 26.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye