
Moses Mwase (ku kkono) , ssaabwandiisi w'ekibiina ky'okuwuga, Andrew Tashobya abadde pulezidenti wa basketball, William owa UOC ne Don Rukare ssaabawandiisi wa UOC, e Lugogo
Bya FRED KISEKKA NE SAMSON SSEMAKADDE
PULEZIDENTI w’akakiiko ka Olympics, aka UOC, William Blick, awabudde ebibiina byemizannyo okuva mu ntalo, n’okukomya okwerumaaluma, essira baliteeke ku kutumbula emizannyo.
Blick yabadde mu ttabamiruka wa UOC e Lugogo n’asaba Moses Muhangi, pulezidenti w’ekibiina kya UBF, eky’ebikonde ne Moses Magogog owa FUFA, bazze ku bbali entalo zaabwe basobole okutwala emizannyo gye bakulembera mu maaso.
“Tusaba ebibiina byemizannyo essira bisinge kuliteeke mu kukulaakulanya mizannyo okusinga entalo” Blick bwe yategeezezza, n’asaba Muhangi ayite mu makubo amalala okusakira ebikonde.
Gyebuvuddeko, Muhangi yeemulugunya ku ngabanya y’ensimbi mu bibiina by’emizannyo eby’enjawulo, n’agamba nti si kya bwenkanya FUFA okutwala obuwumbi 10 ku 17 n’obukadde 400, Gavume nti ze yatadde mu bajeti y’omwaka 2019/20.