TOP

KCCA FC efunye akakiiko k'abawagizi

By Hussein Bukenya

Added 25th February 2019

Ssentebe wa KCCA FC atongozza akakiiko k'abawagizi, n'akasaba okutalaaga eggwanga lyonna basobole okusaggula abawagizi ab'enjawulo

Kakiikoweb 703x422

Abakakiiko k'abawagizi ba KCCA akaggya nga bali ne ssentebe wa kiraabu, Aggrey Ashaba (atudde mu mujoozi omuddugavu) wamu ne Anisha Muhoozi (amuddiridde ku ddyo), akulira KCCA

SSENTEBE wa KCCA FC, Aggrey Ashaba atongozza akakiiko k’abawagizi n’asaba abakulembeze baako okukola obutaweera okuggulawo amatabi mu ggwanga lyonna.

Kano ke kakiiko akasoose mu byafaayo bya ttiimu eno kuba bulijjo abawagizi tebalina bukulembeze bubagatta.

“Mulina okukola omulimu oguteekawo enjawulo kuba tubataddemu obwesige bw’okulaba ng’abawagizi bongera okwettanira kiraabu yaffe,” Ashaba bwe yategeezezza.

Akakiiko kaliko abakulembeze 11 okuva mu divizoni za Kampala ettaano (Kawempe, Makindye, Lubaga, Kampala Central ne Nakawa) nga lukulemberwa pulezidenti, John Fisher Kasenge, era lwakumalako emyaka ena.

Abalala abali ku kakiiko kuliko; Sophie Najjemba (omumyuka wa pulezidenti ku by’obukulembeze n’ebyensimbi), Rogers Mulundo (omukwanaganya), Adam Ssegawa (muwandiisi), Sarah Namaganda (mumyuka w’omuwandiis), Shakirah Nalweyiso (byansimbi), Tom Matovu (mawulire), Hakim Kasirye (byantambula), Henry Mutebi (akiikirira abayizi abasajja), Gladys  Nakazzi (byampisa) ne Lillian Namaganda akiikirira abayizi abakyala.       

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA