TOP
  • Home
  • Rally
  • Blick aleese Ssemakula mu kya Bakunda

Blick aleese Ssemakula mu kya Bakunda

By Nicholas Kalyango

Added 27th February 2019

Blick ne Ssemakula baliko bombi mu myaka gy’e 90 nga Blick avuga emmotoka ekika kya Toyota Supra era nga wiikendi ejja lwe bagenda okuddamu okutuula mu mmotoka emu bwe banaabeera mu mpaka za Central Motor club challenge Rally ezigenda okubeera e Mukono.

Rallyandmotocrosschampionship7 703x422

Blick ng'abusiza emmotoka mu bbanga.

KITUTTE omwezi gumu gwokka bukya Arthur Blick Jr alangirira nga musanyufu nti adding’anye n’omusomi wa maapu Unissan Bakunda bwe baawangula engule y’eggwanga mu 2015. Okudding’ana kwa bano kumaze empaka za mulundi gumu gwokka.

Omwaka guno, Blick yavuze ne Bakunda mu mpaka z’e Mbarara ezaggulawo kalenda era ne bakola bulungi bwe baamalidde mu kyokubiri. Wabula Bakunda ate yeefukuludde nga kati agenda kuvuga mmotoka sso si ku soma maapu. Blick kati agenda kuvuga ne George Semakula (ng’omusomi wa maapu).

“Unissan yazzeeyo kuvuga. Omwaka oguwedde yakola bulungi ng’avuga era twabadde tetulina ngeri gye tumulemesa kutuukiriza biruubirirwa bye. Ssemakula gwe ng’enda okuvuganaye mu mpaka ezisigadde alina obumanyirivu n’emmotoka ekika kya Mitsubishi EvoX,” Blick bwe yawandise ku mukutu gwa ttiimu ye ogwa Facebook (Team Blick racing).

 semakula ku kkono ngali ne hristakis itidis mu mpaka ze barara omwaka oguwedde Ssemakula (ku kkono) ng'ali ne Christakis Fitidis mu mpaka z'e Mbarara omwaka oguwedde.

 

Blick ne Ssemakula baliko bombi mu myaka gy’e 90 nga Blick avuga emmotoka ekika kya Toyota Supra era nga wiikendi ejja lwe bagenda okuddamu okutuula mu mmotoka emu bwe banaabeera mu mpaka za Central Motor club challenge Rally ezigenda okubeera e Mukono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Blackcouplefightrelationshipsadangryunhappye1471357042435690450crop80 220x290

‘Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba’...

ABAKAZI emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.

Napolivsliverpool1 220x290

Liverpool ne Napoli zeewulira amaanyi...

Ancelotti, atendeka Napoli agamba nti Liverpool temutiisa.

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....