TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Eyali owa Express yebbululidde mu Futsal

Eyali owa Express yebbululidde mu Futsal

By Ismail Mulangwa

Added 28th February 2019

Omar Hitimana, eyali kapiteeni wa Express, akolerera kudda mu liigi ya babinywera ng'ayitira mu mpaka za Fustal

Futsalweb 703x422

Ttiimu ya Equator FC. Ku ddyo ye Hitimana

EYALIKO kapiteeni wa Express FC,  Omar Hitimana, omupiira olwamwokya n’asalawo addukire mu futsal, abakozesa abazannyi abataano mu kisaawe.
Hitimana yayatiikirira nnyo mu KCCA ng’omuzibizi, oluvannyuma ne yeegatta ku Express mu 2018, kyokka woosomera bino, ng’ali mu Equator FC mu liigi ya futsal, gy’ayagala okweyambisa okulinnyisa omutindo ogunaamusobozesa okuddayo mu liigi ya babinywera.

Omuzannyo guno gubbuludde abazannyi ab’enjawulo okuli, Mike Mutyaba (KCCA) eyateeba ggoolo 50 ng’ava mu Dream eyawangula empaka zino omwaka oguwedde, Jamil Kaliisa eyeegasse ku Bright Stars sizoni eno ne Edgar Bwogi, Police gwe yakansizza mu February.

Equator eri mu kifo kya 11 n’obubonero 14.  Yeak Kabowa y’ekulembedde ttebo n’obubonero 29, n’eddirirwa Parakeets (25), Park (24) ne Nomad 23.

Leero ku Lwokuna nga February 28, oluzannya olwokubiri lwe luggyibwako akawuuwo e Mengo mu Kisenyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...