TOP
  • Home
  • Mupiira
  • MUBS ewangudde IUEA n'ekajjala ku ntikko

MUBS ewangudde IUEA n'ekajjala ku ntikko

By Musasi wa Bukedde

Added 28th February 2019

MUBS ewangudde IUEA n'ekajjala ku ntikko y'ekibinja D mu liigi ya Pepsi University League

Iueaweb 703x422

Nicholas Kigozi (ku kkono) owa MUBS ne Arsene Rwakuba owa IUEA nga bagoba omupiira

Bya GERALD KIKULWE

Mu Pepsi university League

IUEA 1-2 MUBS

Lwakutaano

KIU – Busitema, Nsambya

ABAWAGIZI ba ttiimu ya International University of East Africa (IUEA) katono booze ku mmunye MUBS bwe yabasuuzizza obubonero busatu mu Pepsi University League.

Omupiira guno gwazannyiddwa ku Lwakusatu, era mu ddakiika 10 zokka MUBS yabadde emaze okugukulembera ne ggoolo 2, olwo abawagizi abaabadde batandikiddewo okukuba enduulu n’eng’oma, ne bawotokerawo.

Abazannyi ba IUEA beerwanyeeko mu  kitundu ekyokubiri era baakyefuze kumpi ebitundu 70 ku 100, ekyagiyambye okufuna ggoolo ng’eyita mu muzibizi Francis Drato. Wabula wadde baarwanyeko, baalemereddwa okufuna ey’ekyenkanyi, okukkakkana ng’omupiira guwedde ggoolo 2-1.

Omutendesi waabwe, Dorian Ntambi, yagambye nti baalowoozezza nti MUBS bagirinako enkizo kuba be baabadde (IUEA) awaka,  ne  yeetondera abawagizi, wabula  n’asuubiza okufiira ku UCU gye bakyalira wiiki ejja e Mukono.

Eno ye sizoni ya IUEA esoose mu liigi ya yunivasite nga kati baakubiri mu kibinja D, n’akabonero kamu. MUBS y’ekulembedde n’obubonero 4.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’