TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Atalina layisinsi atabudde ttiimu za Buganda

Atalina layisinsi atabudde ttiimu za Buganda

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2019

Omuzannyi wa Free Stars ataabadde na layisinsi atabudde abazannyi ba Zirobwe mu liigi ya Buganda

Drakeweb 703x422

Muzaifa Barigye (ku kkono) owa Free Stars ng'alwanira omupiira ne Fred Jjemba owa Zirobwe

Bya DRAKE SSENTONGO

Free Stars           3-1 Zirobwe Young
Lugazi Municipal 1-0 Africa Polysack
Kiwanga United  2-0 Seeta United
Luweero United  0-0 Busula SC
Uganda Martyrs  0-0 Buikwe Red Stars
Young Simba      0-0 Kakiri TC
Kajjansi United   1-0 KU Masaka
Kiyinda Boys       2-0 Standard High Zzana

LAYISINSI ya Ivan Sserubiri,owa Free Stars, yatabudde abazannyi ba  Zirobwe Young ne baagala okumugoba mu kisaawe ttiimu zombi bwe zaabadde zittunka mu liigi ya Buganda, ku kisaawe kya UCU e Mukono.

Free Stars yakansizza Sserubiri owa Buddu, wakati mu sizoni, wabula layisinsi ye yabadde tennaggwa okuva mu FUFA, n’asambira  ku kibaluwa kya Buganda Region Football Association (BRFA), ekibiina ekivunaanyizibwa ku liigi eno.

Wayiseewo akaseera ng'abakulembeze beenyoola ssaako okukuba amasimu mu BRFA, oluvannyuma Sserubiri n'akubwa ekifaananyi, omupiira ne gutandika.

"Etteeka litugamba okukuba ekifaananyi nga twemulugunya k'oyo alina layisinsi," maneja wa Zirobwe, Semu Kiridde bwe yategeezezza.

Free Stars yaguwangudde ku ggoolo 3-1, ezaateebeddwa Emmanuel Anguzu, Muzaifa Barigye ne Anthony Male,  ate eya Zirobwe n'ekubwa Mike Malaga. 

Liigi eddamu ku Ssande nga March 13.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali