TOP
  • Home
  • Mupiira
  • She Corporates emaliridde okusitukira mu kikopo

She Corporates emaliridde okusitukira mu kikopo

By Stephen Mayamba

Added 4th March 2019

Ttiimu ya She Corporates emaliridde okusitukira mu Women Cuo, yeenazeeko ennaku y'okukoma ku munaano omwaka ogwaggwa.

Womenwebweb 703x422

Carol Anyango (ku kkono) owa Muteesa I Royal, ng'alwanira omupiira ne Jacki Ogol owa She Corporates mu gwa FUFA Women Cup ku luzannya olwa ttiimu 16 ku Ssande e Nakawa

She Corporates 1-0 Muteesa I Royals

Uganda Martyrs H/S 1-0 Devine Girls

Makerere University 3-0 Asubo Gafford

ENNAKU y’okukubirwa ku fayinolo y’empaka za FUFA Women Cup omwaka oguwedde kiraabu ya She Corporates emaliridde okugyenazaako na kusitukira mu kikopo ky’omwaka guno.

Ali Zzinda, atendeka She Corporates, agamba nti kyabayisa bubi nnyo okutindigga olugendo lw’e Sheema, awaategekerwa fayinolo y’omwaka oguwedde, ate ekikopo ne kibayita mu ngalo.

She Corporates yakubwa UCU Lady Cardinals ggoolo 2-0, kyokka Zzinda agamba  nti ku mulundi guno bamaliridde okusitukira mu mpaka,era y’ensonga ayabaguza abazannyi okuggumiza ttiimu.

Ku Ssande, She Corporates yayiseemu okwesogga 'quarter' y’empaka zino, bwe yawanduddemu Muteesa I Royal University gye yakubye ggoolo 1-0, eyateebeddwa Munnakenya Millicent Mwanzi mu ddakiika ey’e 14, ku kisaawe kya MUBS.

E Makerere, bannyinimu bakkakkanye ku Asubo Gafford Ladies ne bagitimpula ggoolo 3-0 ezateebeddwa Catherine Nagadya (2) ne Prossy Nabukeera sso ng’ e Lubaga, Uganda Martyrs yalumye n’ogwengulu okuggyamu Devine Girls ku ggoolo 1-0 eyateebeddwa Prossy Nalwoga.

Kawempe Muslim Ladies Junior Team yaakukyaza Mwanda Foundation ku Lwomukaaga nga March 10, ate emirala ena gizannyibwe nga March 17. Gino kuliko; Bunyaruguru Girls ne Tooro Queens,  Kampala Queens ne  Lady Doves, Sagich Royal ne Echos H/S, saako Olila Women H/S ne Kawempe Muslim Ladies

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yawe 220x290

Obukooti bw'oku mazzi mulimu ebicupuli...

OBUSEERE n'ebicupuli by'obukooti obutangira abantu okubbira mu mazzi bitabudde abeeyambisa entambula y'oku mazzi....

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku Whats App ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa