TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes egenda mu nkambi e Misiri okwetegekera Tanzania

Cranes egenda mu nkambi e Misiri okwetegekera Tanzania

By Stephen Mayamba

Added 4th March 2019

UGANDA Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira enkambi egenda kugikuba Misiri nga yeetegekera omupiira ogusembayo ne Tanzania mu kibinja ky’okusunsulamu eza Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2019 ezigenda okubeera e Misiri mu June ne July.

Desabre2 703x422

Omutendesi wa Cranes Sebastien Desabre mu lukiiko lwa bannamawulire e Mengo ku kitebe kya FUFA bw'abadde afulumya olukalala lw'abazannyi abagenda okutandika okutendekebwa okwetegekera omupiira gwa Tanzania. (STEPHEN MAYAMBA)

Omutendesi wa Cranes Sbastien Desabre enkya ya leero akedde kufulumya olukalala lw’azannyi 31 abazannyira awaka mu liigi y’eggwanga ey’ababinywera eya Star Times Uganda Premier League bagenda okutandika okutendekbwa nga March 11 alondemu 9 bagenda okusitura nabo okugenda gye bagenda okwegattira ku baguzannyira ensimbi 15 mu nkambi gye baliva okugenda e Tanzania okuzannya omupiira nga March 24.

Uganda yayitamu dda okuzannya mu z’akamalirizo okuva mu kibinja L sso nga Tanzania gyekyalira yetaaga kuwangula okuyitamu ekitali ekyo Cape Verde eyinza okugisoona ekifo eky’okubiri.

Abazannyi abayitiddwa okuva mu Star Times Uganda Premier League;

Sebwato Nicholas, Saidi Keni, James Alitho, Charles Lukwago, Obenchan Filbert, Willa Paul, Samson Mutyaba, Kizza Mustafa, Majwega Brian, Godfrey Walusimbi, Timothy Awanyi, Mbowa Paul Baker, Mujuzi Musitafa, Halid Lwaliwa, Rashid Toha, Hassan Wasswa Mawanda, Sadam Juma, Eyam Ivan, Taddeo Lwanga, Okello Allan, Waisswa Moses, Bright Anukani, Owori David, Allan Kyambadde, Micheal Birungi, Poloto Julius, Balinya Juma, Serunkuma Daniel, Patrick Kaddu,  Madondo Joel, Bashir Mutanda.

Bapulofesono abayitiddwa;

Denis Onyango, Jamal Salim, Robert Odongkara, Murushid Juuko, Denis Iguma, Nicolas Wadada, Herbert Bockhorn, Moses Opondo, Joseph Ochaya, Khalid Aucho, Faruku Miya, Edris Lubega, Emma Okwi, Karisa Milton ne Muhammad Shaban.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako