TOP

Uganda ettunka leero ne Cameroon mu za U17 e Turkey

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Uganda ettunka leero ne Cameroon mu za U17 e Turkey

Deb2 703x422

Abazannyi ba Uganda nga bali mu kutendekebwa

Bya Joseph Zziwa

Egizannyiddwa leero

Australia-Turkey(5:30 ezokumya)

Cameroon-Uganda(6:00 mu ttuntu)

TTIIMU ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 17"CUBS" ettunka leero ne Cameroon mu mpaka z'omukwano ezatuumiddwa UEFA Assist U17  International tournament mu kibuga Antalya mu gwanga lya Turkey.

Empaka zino zetabidwamu amawanga 12 nga gaateereddwa mu bibinja bisatu,ekisooka kirimu Tanzania,Guinea,Australia ne Turkey,eky’okubiri kirimu Cameroon,Uganda,Morocco ne Belarus ate eky’okusatu kirimu Senegal,Algeria,Angola ne Montenegro .

Ttiimu ya Uganda eri wansi w’omutendesi omupya Jackson Magera(atendeka KCCA ey’abato) ng’amyuukibwa Hamza Lutalo ne Mubaraka Kiberu nga omutendesi w’abakwasi ba ggoolo,kuno kwogatta abakungu ba FUFA okuli Darius Mugoya eyakulidde ttiimu yonna ne Bashir Mutyaba nga maneja,bano basula mu woteeri ya Xanthe Resort and Spa mu kibuga Antalya.

Mugoya ategeezezza nti ebigendererwa bya FUFA kufuula Uganda egwanga erisinga okucanga akapiira ku lukalu lwa Africa nga kati batunuulidde World Cup wa 2016,ono yayongeddeko nti essira balitadde nnyo ku ttiimu eno esobola okuwangula eza AFCON ezakamalirizo mu Tanzania nga bweyakikola mu z’okusunsulamu esobole okukiika mu z'ensi yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sitenda 220x290

Sitenda Ssebalu, eyali omubaka...

SITENDA Sebalu akulukusiza amaziga mu maaso ga Shaban Bantaliza, oluvannyuma lw’okukimanya nti bamuyita mubbi buli...

Sonso 220x290

Amagye gasse ababbi 4 omulundi...

Yabadde nga firimu eya “ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama,” amagye bwe gaabadde gakubagana n’ababbi e Mutundwe eggulo....

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...