TOP

Enjala empanvu katono zimulemese okusamba omupiira

By Samson Ssemakadde

Added 5th March 2019

Enjala empanvu katono zimulemese okusamba omupiira

Kip2 703x422

Omuzannyi nga yerongoosa

Bukasa 0-0 Salaama

Wabigalo 4-0 Katwe II

Lukuli 0-0 Kisugu

Nsambya Central 3-1 Katwe I

ENJALA katono zeremye abasambi ba Katwe I omupiira webatuuse okukebera ebisanyizo by’abazannyi nga layisinsi, wabula nga bano balina enjala mpanvu.

Bano baabadde ku kisaawe kya  Nsambya e Gogonya miti mu mpaka z’emiruka egikola egombolola y’e Makindye eziyitibwa Makindye Mutuba III Sports Tournement.

Webaatuuse okukebera abazannyi, kyazuliddwa ng’aba Katwe I okuli Yusuf Mubiru ne  Zakiyu Ssembatya webabadde n’enjala nga mpanvu eziyinza okubeera ez’obulabe eri basambi banaabwe ekyawaliriza eyabadde agenda okugulamula okubagamba bade ebali basooke bazisaleko.

Bano munaabwe yabawadde akasala enjala nebatandika okuzikweculako era oluvannyuma nebakirizibwa okuyingira mu kisaawe, naye nga kino tekirina kyekyabayambye kuba omupiira gwawedde bakubiddwa ggoolo 3-1 ezatebeddwa Daniel Elimu, Timothy Oyami ne Isaac Ofoyirwoth, ate 

Alex Wasswa n'akuba eya Katwe.

Mirala, Kibuye I yawereddwa ggoolo satu n’obubonero oluvannyuma lwa Nsambya Estates obutalabikako wamu ne  Kibuli olwa Buziga obutajja , ate Kibuye II NE Nsambya  Railways tegwazannyiddwa olwa ttiimu zino okugobwa mu mpaka kuba zalemererwa okutukiriza ebisanyizo ebyabasabibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...