TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aba Buganda bagenda kwesasulira baddiifiri

Aba Buganda bagenda kwesasulira baddiifiri

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Kiraabu za ligyoni ya Buganda zisazeewo okwesasulira baddiifiri olwa ssente za FUFA obutamala

Bugbug 703x422

Andrew Kaweesa (ku kkono), Issa Masembe, ow'abaddiifiri ne David Mutono, omumyuka w'akulira liigi ya Buganda

Bya DRAKE SSENTONGO

KIRAABU za ligyoni ya Buganda ezaali zeesunze obutasasula  baddiifiri olw'ekisuubizo kya pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo, zaasazeewo zibasulireko ekitundu.

Magogo bwe yali asuubiza mu ttabamiruka wa FUFA eyali e Kabaale, yategeeza abakiise nti okutandika ne sizoni ya 2018/19 ekya ssente za baddiifiri ba ligyoni bakirekere FUFA, kyokka ate kati baakabatemye nga buli ligyoni omunaana mu ggwanga bwe yaweereddwa obukadde 20 eza baddiiri. 

Buganda yeetaaga obukadde 57 okusasula baddiifiri buli sizoni.  Buli mupiira, baddiifiri abasatu ne kalabaalaba 'Assessor' bafuna 45,000/- buli omu, (gy’emitwalo 18).  Liigi ya Buganda yeesingamu kiraabu ennyingi (26) era baasaba ligyoni yaabwe eweebwe enkizo, era bakyalinda kiva mu FUFA.

"Naffe tulina bakama baffe (FUFA) abatutwala era liigi tesobola kuyimirira, kwe kusaba buli kiraabu ereeteyo 80,000/- ku mupiira ogw'awaka," ssentebe, Andrew Kaweesa bwe yategeezezza mu lukiio olwatudde e Mmengo ku Mmande.  Sizoni ewedde, kiraabu ekyaza ye yasasulanga emitwalo 18 gyonna.   

Bwogatta ezigenda okuva mu FUFA n'ezaasaliddwaawo kiraabu, buli ddiifiri waakufuna 35,000/- mu kifo kye 45,000/.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.