TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Abasituzi b'obuzito balwanira kugenda Japan

Abasituzi b'obuzito balwanira kugenda Japan

By Silvano Kibuuka

Added 7th March 2019

Abasituzi b'obuzito boolekedde Amerika nga bayigga obubonero obunaabatwala mu mizannyo gya Olympics e Japan

Weightweb 703x422

Musoke (ku kkono), ng’akwasa abazannyi bendera. Ku ddyo ye mutendesi Mubarak Kivumbi n'abazannyi Lawrence Nkutu, Hamdan Lutaaya ne Hakim Ssempereza

 

Abasituzi b'obuzito abageze mu mpaka z’ensi yonna mu Amerika ku Lwokutaano (March 8) lwe batandika okunoonya obubonero obunaabatwala mu mizannyo gya Japan Olympics 2020.

Uganda yatutte abazannyi basatu okuvuganya mu mpaka z’ensi yonna ez’abato mu kibuga Las Vegas mu Amerika, ng’abanaakola obulungi, obubonero bwe banaaba bakung’aanyizza  bujja kubayamba okugenda mu mizannyo gya Olympics.

Abazannyi abaasitudde ye Hamdan Lutaaya Sserwanga (kapiteeni), Lawrence Nkutu ne Hakim Ssempereza nga baagenze n’omutendesi Mubarak Kivumbi.

“Tugenze tumanyi ekigendererwa. Tulina okuvuganya mu mpaka za mirundi mukaaga okunoonya obubonero obunaatutwala e Japan”, Lutaaya bwe yategeezezza.

Pulezidenti w’ekibiina ekivunaanyizibwa ku muzannyo guno, ekya Uganda Weightlifting Federation (UWF), Salim Musoke, ye yakwasizza abazannyi bendeera e Lugogo, n’abakuutira obutabulira mu Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...