TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aba Bugema babinuse masejjere olw'obuwanguzi

Aba Bugema babinuse masejjere olw'obuwanguzi

By Moses Kigongo

Added 7th March 2019

Ttiimu ya yunivasite y'e Bugema ekyali mu ssanyu olw'okuwangula Nkumba mu mpaka za Pepsi University League

Bugema24web 703x422

Dassy Musimenta (ku ddyo) ne Lucky Kasajja (ku kkono), aba Bugema nga bataayiza Eric Yurwoth owa Nkumba

Bugema 2-0 Nkumba

ABAWAGIZI n’abakungu ba yunivasite y’e Bugema, katono bafe essanyu nga ttiimu yaabwe ewangudde Nkumba mu mpaka za Pepsi University League.

Bugema yakubye Nkumba ggoolo 2-0, ekyasanyudde abakungu n’abawagizi abeeyiye mu kisaawe oluvannyuma lw’omupiira, ne batandika okwetooloola etendekero lyonna nga bwe bayimba ennyimba ezisuuta abazannyi n’omutendesi waabwe, Meddie Nyanzi.

“Tuli basannyufu bya nsusso olw’omutindo omulungi abazannyi baffe gwe booleseza nga tuwangula Nkumba, emu ku ttiimu ze tuvuganya nazo mu kifo ekisooka mu kibinja,” Tom Olinga, omu ku bakulira eby’emizannyo e Bugema, bwe yategeezezza.

Obuwanguzi buno bwatangaazizza emikisa gya Bugema okuva mu kibinja A, mwe bali ne Nkumba, YMCA ne Bishop Stuart.

 bazannyi nabawagizi ba ugema mu ssanyu Abazannyi n'abawagizi ba Bugema mu ssanyu

 

Bugema yandibadde ku bubonero 6, kyokka kati erina 2, oluvannyuma lw’akakiiko akategesi okubasalako obubonero 4, olw’okulemererwa okukoma ku bawagizi baayo sizoni ewedde,  bwe bali balwana n’aba Kyambogo.

Ekibinja kikulembeddwa Nkumba n’obubonero 3, n’eddiriwa Bugema mu kyokubiri, sso nga Bishop Stuart ne YMCA tezirinaayo kabonero.

Omutendesi wa Nkumba, Patrick Ssebuliba, yagambye nti ensobi ebbiri  abazannyi be ze baakoze mu kitundu ekisooka, ze zaawadde Nkumba obuwanguzi,  wabula n’agumya abawagizi be nti baakudda engulu bwe banaaba battunka ne Bishop Stuart mu mupiira oguddako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’