TOP
  • Home
  • Rally
  • Mangat avudde mu z'e Mukono lwa bizinensi

Mangat avudde mu z'e Mukono lwa bizinensi

By Nicholas Kalyango

Added 7th March 2019

Mu kifo kya Jas Mangat eyavudde mu mpaka olwa buzinesi, Hassan Alwi yagenda okusimbulwa nga nnamba 2 emabega wa Ronald Ssebuguzi.

Jassss1 703x422

Mangat ng'ava mu mmotoka ye

Wadde ng’abadde yateekamu empapula z’okwewandiisa okuvuganya mu mpaka zino, olukalala olusembayo olwafulumye nga tekuli linnya lye ekyayongedde okukakasa nti Jas Mangat tagenda kwetaba mu mpaka zino.
Okusinziira ku Joseph Kamya amusomera maapu, Mangat yafunye olugendo lwa bizinensi nga tasobola kululeka wabula yasuubizza abawagizi be nti bagenda kukomawo nga b’amaanyi kuba omwaka guno batunuulidde kuwangula ngule ya ggwanga.
Ronald Ssebuguzi y’agenda okuggulawo ekkubo, addirirwe Hassan Alwi ne Kepher Walubi mu kyokusatu. Engule y’omwaka guno ekulembeddwa Jas Mangat n’obubonero 100. Arhtur Blick ne Alwi basibaganye mu kyokubiri n’obubonero 70.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo