TOP
  • Home
  • Rally
  • FMU ereese abuntu 250 kutangira bubenje

FMU ereese abuntu 250 kutangira bubenje

By Nicholas Kalyango

Added 7th March 2019

Mu mpaka za mirundi ebiri ezisembye mu baddemu obubenje. FMU omulundi guno esiira eritadde mu kulwanyisa bubenje.

Blick 703x422

Arthur Blick ng'avuga Evo 10 ye.

ABAKUNGU ba Central Motor Club (CMC) n’ab’ekibiina ekifuga omuzannyo gwa mmotoka z’empaka mu ggwanga (FMU) baataddewo ekibinja ky'abantu 250 okulaba nga batangira obubenje mu mpaka za CMC Challenge Rally ezigenda okubeera e Mukono wiikendi eno nga March 9-10.
Ssaabawandiisi wa FMU, Ernest Zziwa yagambye nti mu mpaka zino bagenda kusinga kukulembeza kya kwewala bubenje kuba omuzannyo gwetaaga abawagizi nga balamu era y’ensonga lwaki bayungudde abakuumi bangi.
“Twagala kulaba nga tutaasa obulamu bw’abawagizi nga tukendeeza ku bubenje obubeera mu muzannyo. Mu mpaka z’e Mbarara emmotoka yatta omuntu kye tutayagala kiddemu kulabika mu muzannyo. Omuzannyo gukula bawagizi, obubenje bubeera bubagoba,” Zziwa bwe yagambe.
Empaka zino za kutandika ku Lwomukaaga n’ez'omu kisaawe ku Festino City e Mukono enkeera zoolekere ebitundu okuli; Nammere (Kiyunga Bugerere), Geggedde mu majaani, Nakapinyi - Mbalala (Mukono), Nandagi (Namawojjolo) zimalire e Nama wabula ng’ebitundu bino byonna zaakubiyitamu emirundi esatu. Engule y’omwaka guno ekulembeddwa Jas Mangat n’obubonero 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira