TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Sipiika wa palamenti asiimye aba cricket

Sipiika wa palamenti asiimye aba cricket

By Silvano Kibuuka

Added 11th March 2019

Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga, ategeezezza nga bw'agenda okwongera okutunda omuzannyo gwa cricket mu babaka gusobole okweyongera okukula

Cricketweb 703x422

Kadaga (wakati mu ssuuti ) ng'ali n'abamu ku bawanguzi ku wooteeri ya Kati Kati e Lugogo

 

SIPIIKA wa Palamenti, Rebecca Kadaga asiimye bonna abeenyigira mu muzannyo gwa cricket nti bayambye okutumbula eggwanga nga beetaba mu mpaka ez’enjawulo.

Kadaga era yasiimyemu akensusso abakyala n’abavubuka abeenyigidde mu muzannyo guno n’agamba nti agenda kwongera okusikiriza ababaka ba palamenti batandike okuzannya cricket bongere okugumanya n’okugutumbula.

Sipiika yabadde ku kijjulo ekibiina kya kya Uganda Cricket Association (UCA)  kwe kyatikkiriridde abaasinze okukola obulungi mu muzannyi guno omwaka oguwedde, ku wooteeri ya Kati Kati.

Ssentebe wa UCA,  Bashir Badu agambye nti baagala kulaba ng'omuzannyo guno gukula okwongera ku bazannyi 55,000 abaguzannya kati, era essira balitadde mu masomero,n’asiima ne kkampuni ezibayambye okubassaamu ensimbi.

 

Abaasinze

1.Abazannyi b’omwaka - Immaculate Nakisuyi (Mukazi) ne Riatz Alisha (Musajja).

2.Abasinze obuto -  Ester Iluka (Muwala) ne Juma Miyagi (Mulenzi).

3.Maneja w’omwaka   Jackson Kavuma.

4.Omutendesi w’omwaka   Yusuf Nanga.

5.Ddiifiri w’omwaka   Norbert Abbi.

6.Munnamawulire w’omwaka   Ramzan Kakooza

7.Eyasinze okutegeka ebisaawe   Peter Mutebi.

Kiraabu ezaasinze:

Ekibinja ekisooka:

Abakazi -  Aziz Damani Development Team

Abasajja  -  Aziz Damani Club

Ekibinja ekyokubiri:

Abakazi - Soroti Challengers

Abasajja -  Tonado Cricket Club

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

Sit14 220x290

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko...

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

Tip25 220x290

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino...

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino