TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba Taibah battunse mu mizannyo egy'enjawulo

Aba Taibah battunse mu mizannyo egy'enjawulo

By Silvano Kibuuka

Added 11th March 2019

Abazadde bakubiriziddwa okuyamba abaana baabwe okwettanira ebyemizannyo

Bugaweb 703x422

Abayizi nga bategeka okuttunka mu bugaali

ABAYIZI b’ennyumba ya Bbulu Mufumbira ku Taibah Junior School baalemeddwa emizannyo emirala ne beesiba ku bugaali, bwe bawanguddemu ebikopo bina (4) okusitukira mu bwa nnantameggwa mu mizannyo gy’essomero lino.

Bawangudde mu bakulu n’abato mu mmita 100 ne 400 okulinnyisa obubonero okuwangula.

Bbulu Mufumbira, eyakwata ekyokusatu omwaka oguwedde, yawangulidde ku bunonero 685 n’eddirirwa Green Moroto,  eyawangudde mu badminton, okuwuga n’emisinde n’efuna obunonero 646.

Yellow Elgon yasinze ku kubaka n’ekwata kyakusatu ku bunonero 569,  olwo Red Rwenzori esinzizza empisa n’emalira ku bubonero 548.

 ahad utebi omu ku bazadde ba aibah unior chool e awempe ngakwasa abayizi bennyumba ya bulu mufumbira Mahad Mutebi omu ku bazadde ba Taibah Junior School e Kawempe ng'akwasa abayizi b'ennyumba ya Bbulu mufumbira

 

Akulira essomero lya Taibah, Madina Mugenyi asoomoozezza abazadde okujjumbira okuyamba abaana baabwe mu bintu ebikolebwa ebweru w’ebibiina basobole okuzimbibwa nga bajjudde mu buli kintu.

Agambye nti abaana okwenyigira mu mizannyo kibayamba okusoma obulungi kubanga giwagala obwongo sso nga n’abamu ku ssomero basinga kunyumirwa mizannyo gye balinamu ttalanta.

Abayizi 576 be beetabye mu mizannyo gino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Team 220x290

Minisita alonze akakiiko akanaasalawo...

MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Museveni alonze akakiiko ka bantu 17 okwekenneenya lipooti eyakolebwa akakiiko k’omugenzi...

Gomez 220x290

Selena Gomez alangiridde bw'agenda...

Selena yatambulira ku mukolo gwa Cannes ogwa kapeti emmyuufu nga Murray atongoza firimu ye empya emanyiddwa nga...

Hat2 220x290

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde...

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

Bajulizi 220x290

Emikolo gy'okutegeka olunaku lw'Abajulizi...

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Cryodon Catholic Community ekisangibwa ku njegoyego...

Jeje703422 220x290

Minisita JJ Odongo alumbye Poliisi...

MINISITA w’ensonga ez’omunda Gen. Jeje Odongo (wansi) atabukidde abakulu mu poliisi olw’enguzi esensedde ekitongole...