TOP

Aba Nkumba bali mu kattu lwa nsimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

Ttiimu ya Nkumba eya volleyball eyigga nsimbi ez'okugitwala e Misiri okwetaba mu mpaka za Afrika

Volweb 703x422

Maria Bugonzi ne Lillian Adeke (ku kkono) nga bazibira Habibah Namala owa Nkumba

Bya GERALD KIKULWE

YUNIVASITE ya Nkumba batuula bufoofofo okulaba nga bafuna obukadde 40 okusobola okwetaba mu mpaka za Afrika ez'abaka (Women’s African Club Volleyball Championship 2019).

Sizoni ewedde Nkumba yasitukira mu bikopo bibiri,  ekya ttiimu empanguzi  mu ggwanga (National Club Volleyball Championship) n’ekya liigi (Aziz Damani National liigi), ekyagiyisaawo okukiikirira Uganda mu za Afrika, ate Nemostars ne UCU bakiikirire abaami.

Empaka zino zitandika ku Lwamukaaga nga March 16 mu kibuga Cairo ekya Misiri, wabula Nkumba ebuliddwa ensimbi ezibeetaagisa okutambuza abazannyi n’okubalabirira okumala enaku 10 ze balina okumalayo. Empaka zikomekekrezebwa nga March 25.

Nkumba erina kusitula ku Lwokuna nga March 14, wabula singa eremererwa, kitegeeza Uganda tegenda kufuna ttiimu y’abakazi  kuba Ndejje, ttimu endala eyalina okukiika, nabo okubivaamu olw’ensonga y’ensimbi.

Tonny Lakony, atendeka Nkumba agamba nti babadde n’embalirira ya bukadde 75, wabula baakafunako obukadde 35, nga singa tebafuna zisigaddeyo,  zibula baakuwalirizibwa okutwalako abazannyi mukaaga bokka  ekintu eky’obulabe ennyo kuba omu bw’alwala tewaba mulala.

Ku Lwokutaano, Nkumba yategese enzannya ez’omukwano wakati wa UCU Doves ne Kampala Amatuer Volleyball Club (KAVC) ku MTN Arena e Lugogo, n’ekigendererwa eky’okusonderako ssente. Nkumba yawangudde KAVC ku nzannya 3-0 ate n’ekubwa UCU Doves ku nzannya 2-1.

Guno gwe mulundi ogwokuna nga Nkumba yeetaba mu mpaka zino. Sizoni ewedde baamalira mu kyamwenda  ku ttiimu 21.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...