TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Nassuuna asemberedde likodi ya ggoolo 100

Nassuuna asemberedde likodi ya ggoolo 100

By Stephen Mayamba

Added 11th March 2019

OMUTEEBI wa UCU Lady Cardinals ne Crested Cardinals Hasifa Nassuuna yeesomye okusaawo likodi okufuuka omuzannyi asoose okuweza ggoolo 100 mu FUFA Women Elite League.

Liigiyabakazi01 703x422

Penina Akuku owa She Corporates (ku kkono) ng'alwanira omupiira ne Jamira Nabulime owa Rines SS mu gwa FUFA Women Elite League ku Lwomukaaga. Balemaganye 1-1. (STEPHEN MAYAMBA)

UCU Lady Cardinals 4-2 Isra S.A

She Corporates 1-1 Rines SS

Ajax Queens 0-2 Kawempe Muslim

Olila H/S 1-0 Kampala Queens

Uganda martyrs 6-0 Bugiri Town View

Muteesa Royals 1-1 Asubo Gafford

Lady Doves 4-1 Dynamic Jjeza

Lango Queens 0-1 Makerere

Nassuuna ku wiikendi yateebye ggoolo satu nayamba ttiimu bwe yabadde ewangula Isra Soccer Academy 4-2 okulinya ku ntikko y’ekibinja kya Elizabeth ku bubonero 21. Nassuuna yawezezza ggoolo 13 sizoni eno sso ng'omugate zaweze 82 zeyakateeba mu liigi y'eggwanga ey'omupiira gw'abakazi bukyanga etandkibwawo mu 2015. 

Yabadde ayakira e Mukono nga nnyina Annet Nakimbugwe avuyiza e Soroti ttiimu ye aya Kampala Queens bwe yakibiddwa banyinimu aba Olila H/S ggoolo 1-0 nebasindikiriza mu kifo eky’okusatu. Olila mu ky’okubiri yenkanya obubonero ne UCU sso ng’esinga Kampala Queens busatu.

Nassuuna yawezezza ggoolo 13 sizoni eno ng’addirirwa Fauzia Najjemba eyateebye eza Isra S.A ne Juliet Nalukenge owa Kawempe abalina ggoolo 10 buli omu.

Uganda Martyrs yagudde ku Bugiri Town View ekiyifuyiifu negikomerera ggoolo 6-0 neweza obubonero 16 mu ky’okuna sso nga ne Makerere yeegaganudde nekuba Lango Queens ggoolo 1-0.

Kawempe yeesozze akakungunta;

Mu kibinja kya Victoria bakyampioni aba Kawempe Muslim baakakkasiza ekifo kyabwe mu kakungunta ka ‘playoffs’ bwe balumbye Ajax Queens e Buddo ne bagikubirayo ggoolo 2-0 ezaatebeddwa Juliet Nalukenge ne Asia Nakibuuka neweza obubonero 30 nga kati ekibinja kisigaddemu ekifo kimu kyokka.

Lady Doves emu ku zirwanira okwegata ku Kawempe Muslim mu ‘playoffs’ yakubye Dynamic Jjeza ggoolo 4-1  neweza obubonero 22.

E Nakawa She Corporates yawonye okuswalira omwayo bwe yavudde emabega okulemagana ne Rines SS ku ggoolo 1-1.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...