TOP

Sijja kugenda mu Real Madrid - Mbappe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

Mbappe ye yateeba ggoolo eyookubiri nga bawangula ManU mu gwasooka mu gw'oluzannya lwa ttiimu 16 mu Champions League.

2017psgmbappeball 703x422

Mbappe omuteebi wa PSG eya Bufalansa.

Omuteebi wa PSG, Kylian agumizza abawagizi ba ttiimu ye nti tagenda kuva mu ttiimu eyo ng'eng'ambo bwe zibadde zibungeesebwa.

Mbappe, omuzannyi Real Madri gw'ebadde yeegwanyiza, agamba nti yamaze okusalawo era tagenda kujjululakye yasazeewo nti agenda kusigala.

Real yataddewo obukadde bwa pawundi 300 okunoonya omuzannyi anaaziba eddibu lya Cristiano Ronaldo eyeegatta ku Juventus er Mbappe y'omu ku babadde ku lukalala lw'abazannyi be baagala.

Omuteebi ono ow'emyaka 20, y'akulembedde abateebi mu liigi ya Bufalansa ne ggoolo 24 era ttiimu ya PSG y'ekulembedde ttebo ng'esinga ali mu kyokubiri obubonero 14.

Waliwo okutya nti oluvannyuma lwa PSG okulemwa okweyongerayo mu Champions League, bassita baayo ab'amaanyi okuli Mbappe ne Neymar baakugyabulira era abakulira ttiimu eno bali mu kulaba nga babamatiza basigale.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana