TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttiimu ya mutabani wa Simwogerere eyokya

Ttiimu ya mutabani wa Simwogerere eyokya

By Samson Ssemakadde

Added 12th March 2019

Ttiimu ya mutabani wa George Simwogerere eyiseewo okwesogga 'quarter' y'empaka z'amagombolola g'e Makindye

Webwebweb 703x422

Kafumbe Kizza owa Lukuli (ku kkono) ng'attunka ne Noordin Yusuf owa Kisugu.

Katwe I 2-3 Nsambya Central

Ggaba 2-2 Kibuli

Makindye 1-0 Luwafu

Nsambya Estates 0-3 Kibuye I

Nsambya Railways 0-3 Kibuye II

Makindye II 0-3 Kabalagala

Buziga Kansanga

Katwe II 1-3Wabigalo

Kisugu 1-4 Lukuli

LUKULI FC,  ttiimu ya Brian Nakatanza, mutabani w’omutendesi wa Express FC, George Simwogerere, yeeriisizza nkuuli mu mipiira gy’emiruka egikola eggombolola y'e Makindye, bwe yalumbye Kisugu omwayo n’agisinsimula ggoolo 4-1.

Mu mupiira ogwasooka ku kisaawe ky’omu Kirombe e Lukuli, bannyinimu baalemagana ne Kisugu 0-0 ng’ogw’okudingana Lukuli erina kufuna maliri agalimu ggoolo okuyitawo, sso nga Kisugu yeetaaga buwanguzi.

Kino kyawa aba Kisugu essuubi nga basuubira omupiira gugenda kubeera mwangu naye bwe baatuuse ku kisaawe kyabwe, Lukuli ne baafuukira ekizibu, okukkakkana ng’ebawangudde.

Ggoolo za Lukuli zaateebeddwa Derrick Mukiibi, Isaac Ogwang (2) ne Colline Seruwu, ate eya Kisugu n’eteebwa  Joseph Kakooza.

Ttiimu endala ezeeyongeddeyo kuliko; Nsambya Central, Luwafu, Kibuli, Wabigalo, Kabalagala, Kansanga  Kibuye I ne Kibuye.

Obululu lw’oluzannya oluddako bukwatibwa ku Lwokuna (March 14), sso ng’omupiira ogusembayo wakati wa Salaama ne Bukasa gwa nkeera  ku Lwakutaano.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Bumate United FC etanziddwa emitwalo...

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe