TOP

MUBS ne KU zaakweriga masajja

By Gerald Kikulwe

Added 12th March 2019

EMPOLOGOMA ebbiri eza Pepsi University League MUBS ne KU zisisinkanye omuddo guboneebo ku lwokusatu luno ku kisaawe e Nakawa okwawula ani musajja ku munne.

Francisjuruabentinaowaucukuddyongattunkanelawrencevvuleowamubs2 703x422

Francis Jurua Bentina owa UCU ku ddyo ng'attunka ne Lawrence Vvule owa MUBS (2)

Bya GERALD KIKULWE

Mu Pepsi University League

MUBS – KU,Nakawa(Enkya Lwakusatu)

UCU – IUEA,Mukono(Lwakuna)

KIU – Kumi,Nsambya(Lwakutaano)

KYU- Busitema,Kyambogo(Ssande)

Ababiri bano baakawangula ekikopo kya yunivasite emirundi ebiri buli omu nga baakesanga emirundi ena mu liigi y’emu wabula nga buli omu yaakakuba munne omulundi gumu gumu n’amaliri ga mirundi ebiri.

Eby’afaayo mu nsisinkano ez’enjawulo ezitali za yunivasite,ziwa Kampala Univasite enkizo kuba ezisinga y’ebadde ewangula, wabula bwe tutunuulira ffoomu ku ssaawa eno, MUBS erina enkizo oluvannyuma lw’okuwangula ekikopo kya East Africa University games mu January e Dodoma, be balina ekya Uganda Inter-Univasity games ate ne mukibinja D be bokka abalina wiini.

MUBS etuuse ku fayinolo za liigi ya yunivasite emirundi 4 n’ewangulako ebiri egyomuddiringanwa ate KU etuuse ku fayinolo emirundi 3 n’ewangulako ebiri.

Charles Ayiekho atendeka MUBS agamba nti eno y’emu ku fayinolo za sizoni eno wabula agenda kukozesa obukugu bwonna okulaba ng’afuna wiini okwenywereza ku ntikko y’ekibinja.

MUBS ekulembedde ekibinja D n’obubonero 4 mu mipiira ebiri ate KU, IUEA ne UCU buli omu alina obubonero bubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Bumate United FC etanziddwa emitwalo...

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe