TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes erinnyisizza ggiya mu kutendekebwa

Cranes erinnyisizza ggiya mu kutendekebwa

By Silvano Kibuuka

Added 12th March 2019

Ttiimu ya Cranes egenda mu maaso n'okutendekebwa okwa kaasammeeme nga yeetegekera okuzannya Tanzania mu z'okusunsulamu abalizannya eza Afrika

Cranes1web 703x422

Abasambi ba Cranes Hassan Wasswa , Sadam Juma, Bashir Mutanda, Benson Obenchan ne Joel Mudondo mu kutendekebwa

Abasambi 21 aba Cranes, be  beetabye mu kutendekebwa ku makya ga leero (Lwakubiri), nga beetegekera Taifa Stars eya Tanzania,  mu luzannya olusembayo olwa AFCON 2019, ogwa nga March 24.

Mike Birungi owa Express, yeegasse ku ttiimu eno, eyatandise okutendekebwa ku Mmade era ng’omutendesi Sebastien Desabre abadde abawa obukodyo bwa kusensera kuteeba ggoolo.

Ttiiimu enzijuvu ey’abasambi ab’awaka omutendesi be yayita, esuubirwa okuggwaayo ku Lwokuna ng’abasinga bajja kuba bamaze okusamba emipiira gya liigi ya Star Times ne Stanbic Uganda Cup. Ttiimu ezikyakozesa abasambi baazo kuliko Vipers, Police ne Bright Stars, sso nga Rashid Toha owa Onduparaka, tenneeyanjula.

Cranes yaakusamba omupiira ogw’okwegezaamu ogwa ‘Cranes Na Mutima’ ne ttiimu ya Kampala Region ku Lwomukaaga e Lugogo, nga tennasitula ku Ssande okwolekera e Misiri gy’egenda okuzannyira  ogw’omukwano. Eno gy’egenda okuva egende butereevu e Dar es  Salaama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo