TOP

Zidane atandise emirimu gy'okutendeka Real

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

Zidane yayabulira Real oluvannyuma lw'okuwangulira ttiimu eno bisatu ebya Bulaaya.

Zidane 703x422

Zidane (ku ddyo) n'omu ku bamyuka be.

ZINEDINE Zidane n’abamyuka be baatandise emirimu gy’okutendeka Real mu butongole.

Enkya ya leero, Zidane asisinkanye abazannyi mu kisaawe kya Ciudad Real Madrid ttiimu eno gy’etendekerwa.

Yasoose kulambula bikozesebwa eby’enjawulo okuli; jiimu, eddwaaliro abazannyi gye bajjanjabirwa obuvune, effumbiro n’ebirala era yonna bakira gy’agenda, abakozi baayo bamwaniriza mu ssanyu ate naye n’abaako ebiragiro by’abawa kuba ye mukama waabwe.

Omufalansa ono, yakomyewo mu Real oluvannyuma lw’emyezi 10 gy’abadde amaze nga tatendeka okuva lwe yasuulawo omulimu guno.

Yakomyewo n’abayambi be David Bettoni ne Hamidou Msaidie be yawangula nabo ebikopo bya Champions League ebisatu ebiddiring’ana.

Real yafuumudde Santiago Solari ku butendesi oluvannyuma lwa ttiimu okuvumbeera n’ewanduka mu Champions League ssaako Copa del Rey sso nga ne mu liigi ya Spain, Real yaakusatu nga Barcelona ekulembedde ebasinga obubonero 12.

Zidane waakutandikira ku Celta Vigo ku Lwomukaaga mu liigi ya Spain.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi