TOP

Abazannyi 5 beeyanjudde mu Cranes

By Silvano Kibuuka

Added 13th March 2019

Uganda Cranes yeeyongedde okubangulwa enkya ya leero nga beetegekera Taifa Stars eya Tanzania mu luzannya olusembayo mu kusunsula abaneetaba mu z’akamalirizo eza Africa Cup of Nations 2019 ezinaaba mu ggwanga lya Misiri nga June 21- July 19.

Cranestrainfortzmar132019shooting2 703x422

Abamu ku basambi ba Cranes ng abakuba emipiira mu ggoolo mu kutendekebwa e Luogo Mar 13 2019. (Ekif:Silvano Kibuuka)

Leero abasambi bataano beegasse ku ttiimu nga bano bavudde mu kiraabu ezibadde zikyalinayo emipiira gya liigi ya Star Times ne Stanbic Uganda Cup.

Tadeo Lwanga, Daniel Sserunkuma, Moses Waiswa ne Halid Lwaliwa aba Vipers beegasse ku ttiimu, ssaako Mustafa Mujuni ne Bright Anukani aba Proline FC.

Omutendesi Sebastian Desabre ategeezezza ab’amawulire okuvannyuma lw’okutendeka ttiimu nti ku bazannyi abali mu kutendekebwa e Lugogo agenda kulondako mwenda bokka abaneegatta ku ba pulofesono 15 abagenda okwegatta ku ttiimu mu nkambi egenda okukubibwa mu Misiri nga beetegekera Tanzania.

Wabula Desabre asudde abasambi Denis Iguma ne Herbert Bockhorn lwa buvune.

Iguma amusikizza Chrizestom Ntambi agusambira mu Ethiopia.

Ttiimu eddamu okutendekebwa enkya n’Olwokutaano ku makya e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente