TOP

Magogo asiimye Buganda ku mizannyo

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo, asiimye Obwakabaka bwa Buganda olw'okuwagira emizannyo

Drakewebweb 703x422

Mariam Mpaata owa Junior Stars Academy ng'awanise akalulu ka Buganda. Awanise emikono ku ddyo ye Mike Leti owa West Nile, ne Peter Nkugwa owa Kampala

Bya DRAKE SSENTONGO

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo asiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’okubawagira mu mpaka za FUFA Drum.

Magogo, yanokoddeyo Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, ne minisita w'ebyemizannyo e Mmengo, Henry Ssekabembe, be yagambye nti babayambye nnyo mu kuddukanya empaka zino n’emizannyo emirala.

Magogo bino yabyogeredde ku  wooteeri ya Jevine e Lubaga  ku mukolo gw’okukwatiramu obululu bw’empaka za FUFA Drum ez’omwaka guno.

Empaka zino zitandika ku nkomerero y'omwezi guno, nga Buganda ekyaza Lango bwe baali mu kibinja ekimu sizoni ewedde.

 agogo mu kutongoza empaka za  rum Magogo mu kutongoza empaka za FUFA Drum

 

Enkola ey'ebinja esigadde nga ya kukyalagana, wabula ekikyuseemu ku mulundi guno ze 'quarter', semi ne fayinolo,  ezigenda okubeera mu kifo ekimu. Ssentebe w’empaka zino, Rogers Byamukama, yategeezezza nti kino kikoleddwa  okwongera okusikiriza abavujjirizi n'okusobozesa ttiivi ez'enjawulo okulaga emipiira gino.

Kkampuni a National Insurance Corporation (NIC) etaddemu yinsuwa okujjanjaba abazannyi n'abakulembeze ba Pulovinsi nga bafunye obuvune mu mpaka zino.

EBIBINJA BWE BIYIMIRIDDE;

Ebibinja A; Busoga, Kampala, Tooro, Rwenzori

Ekibinja B; Buganda, Ankole, Lango, Sebei

Ekibjnja C; West Nile, Acholi, Bunyoro, Karamoja

Ekibinja D; Bukedi, Bugisu, Teso, Kigezi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte