TOP

Real Madrid ekansizza omuzibizi wa FC Porto

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

Ekisenge kya Real kibadde kiyuuga ekibaviiriddeko okuteebwanga ggoolo kumpi mu buli mupiira.

Militao 703x422

Militao, omuzibizi Real Madrid gwe yakansizza.

REAL Madrid etandise okwenyweza mu bitongole byayo ebibaddemu ebituli sizoni eno.

Mu kiro ekyakeesezza leero, bakirimaanyi b’e Spain baalangiridde nga bwe batuuse ku nzikiriziganya ne FC Porto ku muzibizi Elder Militao okumukansa.

Militao, 21, y’omu ku bazibizi abakutte ttiimu za Bulaaya omubabiro  olw’omutindo omusuffu gw’ayolesezza sizoni eno.

Olw’ekisenge kyabwe ekigumu, Militao atuusizza Porto ku ‘quarter’ za Champions League sso nga ne liigi y’e Portugal, bali mu kyakubiri ku bubonero 60 bwe benkanya ne Benfica ekulembedde.

Omuzannyi ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka mukaaga eggwaako mu 2015.

ManU ne Man City nazo zibadde zimwegwanyiza kyokka Zinedine Zidane eyaakadda ku butendesi bwa Real n’abamusoona.

Ensonda zaategeezezza nti Zidane baamusuubizza obukadde bwa pawundi 300 okugula abazannyi abapya era ne bamusaba akwate olweyo agobe abo abatamuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte