TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ez'amakampuni e Jinja zeeyongeddemu ebbugumu

Ez'amakampuni e Jinja zeeyongeddemu ebbugumu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

Ttiimu ya kkampuni ya Amazima School erina okulwana ennyo okweddiza ekikopo ky'amakampuni g'e Jinja oluvannyuma lw'abaaziwangulako okukomawo okuzeetabamu

Mugoodaweb 703x422

Christine Tina Atibo owa Blink Logistice ng'ayisa omupiira ku muzanyi wa Letshego omwaka oguwedde

Bya BRUNO MUGOODA

BANNANTAMEGGWA b'empaka z’amakolero ge Jinja, aba Amazima School, baakufuna okuvuganya okw'amaanyi oluvannyuma lwa kkampuni ezaawangulako empaka zino okomawo.

MUBS Jinja ne Kakira Sugar Limited ze zaakomyewo era olwamaze okwewandiisa ne zisuubiza okussaawo okuvuganya okw'amaanyi zisobole okuddamu okusitukira mu kikopo kino.

Empaka z’omwaka guno zaakwetabwamu kkampuni 20 ezinabbinkana mu mizannyo egy'enjawulo okuli, omupiira, volleyball n'emisinde.

Ssentebe w'akakiiko akategesi, Erisa Kakaire, yategezezza nti basuubira kkampuni zonna okukuuma empisa n'okukwata obudde.

"Tetwamalangayo mipiira egimu olwa kkampuni ezimu okutuuka ekikeereezi. Ku luno, kkampuni etaatukire mu budde ng'egyibwako obubonero," Kakaire bwe yannonnyodde.

 Empaka zisuubirwa okutwandika nga March 31.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo