TOP

Nkumba egenze mu za Afrika nga tewera

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

Ttiimu ya Nkumba eya volleyball agenze okwetaba mu mpaka za Afrika nga tewera oluvannyuma lw'okubulwa ensimbi

Nkumbaweb 703x422

Abazannyi ba Nkumba

Bya GERALD KIKULWE

ABAZANNYI ba yunivasite y’e Nkumba basitudde okugenda mu mpaka za Women’s African Club Volleyball Championship nga tebawera, lwa bbula lya ssente. Baagenze 12 mu kifo ky’e 16.

“Tumaze ebbanga nga tunoonya obukadde 75 naye teziweze. Wabula wadde tugenze tetuwera, tetugenda kuva ku mulamwa era tugenda kuzannya na maanyi okulaba nga tumalira mu ttiimu 8 ezisooka, tuwanike bendera ya Uganda,” Tonny Lakony, atendeka Nkumba bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde, Nkumba yasitukira mu bikopo bibiri okuli ekya ttiimu empanguzi mu ggwanga (National Club Volleyball Championship) n’ekya liigi, era kino kye kyagiyisaawo okukiikirira Uganda mu za Afrika.

Ttiimu yasitudde ku Lwakuna okwolekera Cairo ekya Misiri,  awagenda okubumbujjira empaka  okutandika ku Lwomukaaga (March 16), zikomekkerezebwe nga March 25.

Guno gwe mulundi ogwokuna nga Nkumba yeetaba mu mpaka za Afrika. Sizoni ewedde baamalira mu kyamwenda ku ttiimu 21. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Team 220x290

Minisita alonze akakiiko akanaasalawo...

MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Museveni alonze akakiiko ka bantu 17 okwekenneenya lipooti eyakolebwa akakiiko k’omugenzi...

Gomez 220x290

Selena Gomez alangiridde bw'agenda...

Selena yatambulira ku mukolo gwa Cannes ogwa kapeti emmyuufu nga Murray atongoza firimu ye empya emanyiddwa nga...

Hat2 220x290

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde...

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

Bajulizi 220x290

Emikolo gy'okutegeka olunaku lw'Abajulizi...

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Cryodon Catholic Community ekisangibwa ku njegoyego...

Jeje703422 220x290

Minisita JJ Odongo alumbye Poliisi...

MINISITA w’ensonga ez’omunda Gen. Jeje Odongo (wansi) atabukidde abakulu mu poliisi olw’enguzi esensedde ekitongole...