TOP

Paul Scholes obutendesi bumwokezza n'asuulawo ttiimu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

Scholes y'omu ku baali abawawuwuttanyi ba ManU aba kabi ne bawangulira ttiimu eyo ebikopo bingi.

Scholes 703x422

Scholes abadde atendeka Oldham eya League Two.

EYALI omuwuwuttanyi wa ManU, Paul Scholes asuddewo omulimu gw’okutendeka Oldham eya League Two e Bungereza ng’agamba nti takyasobola kugiddukanya mu ngeri gye yandyagadde eddukanyizibwe.

Scholes, muwagizi wa Oldham okuva obuto era okutwala omulimu guno gw’amazeeko wiiki ennya (omwezi gumu) abadde n’essuubi nti anaawa abawagizi essanyu naye ly’awulira ku mutima naye bigaanyi.

Omutindo gwa ttiimu eno guddiridde nnyo nga Scholes ye mutendesi waayo kuba mu mipiira mukaaga gye basembye okuzannya, tebawanguddeeko na gumu.

Scholes, abadde amanyiddwa ennyo mu kusojja abatendesi ba ManU ku luwonzi buli ttiimu lw’ekola obubi, yeetondedde abawagizi, abakungu n’abazannyi ba ttiimu olw’okubayiwa n’atatuukiriza buvunaanyizibwa bwe.

Wabula waliwo abawagizi abagambye nti Scholes k’akirabe kuba yasojja nnyo Mourinho we yabeerera mu ManU era Scholes y’omu ku baamugobya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...