TOP

Zidane attukizza eby'okukansa De Gea owa ManU

By Musasi wa Bukedde

Added 17th March 2019

Okuva Courtois lwe yajja mu Real, omutindo gwe gwaddirira nnyo nga ku gwa Celta Vigo, baamutuzizza.

2018manuvsouthampton33 703x422

David De Gea omukwasi wa ggoolo ya ManU.

OMUTENDESI wa Real Madrid Omuggya, Zinedine Zidane yandittukiza eby’okukansa omukwasi wa ggoolo ya ManU, David De Gea mu katale k’abazannyi aka June.

Kiddiridde Zidane eyaakadda mu Real okusuula Thibaut Courtois ku mupiira mwe baawangulidde Celta Vigo ggoolo 2-0 ku Lwomukaaga.

Ensonda zaategeezezza nti Courtois si ye mukwasi wa ggoolo Zidane gw’amatira era kimu ku byavaako obutakkaanya wakati wa Florentino Perez ne Zidane.

 

 hibaut ourtois akwatira mu eal mu kiseera kino Thibaut Courtois akwatira mu Real mu kiseera kino.

 

De Gea tannasa mukono ku ndagaano mpya mu ManU era abakungu mu ttiimu eno babadde balinze sizoni eggweeko bamuwe endagaano ensava.

Wano Zidane w’ayagala okusinziira amupasule. ManU eyagala kumuwa mitwalo gya pawundi 35 buli wiiki sso nga Real esuubirwa okuzisussa.

Real yawanduse mu bikopo byonna okuli; Champions League ne Copa del Rey nga ne mu liigi, bali mu kyakusatu nga Barcelona ekulembedde, ebasinga obubonero mwenda nga bagisinza omupiira gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza