TOP

ManU erina okumalira mu bifo ebina ebisooka - Matic

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

ManU esigazizza emipiira munaana gy'erina okuwangula ate nge bw'esabirira b'evuganya bakole ensobi.

2018manuvwolves1a8 703x422

Ander Herrera owa ManU (ku kkono) ng'attunka ne Diogo Jota owa Wolves mu gwa FA Cup ku Lwomukaaga.

OMUWUWUTTANYI wa ManU, Nemanja Matic alabudde ttiimu bwe bavuganya ku bifo ebina ebisooka nti zeegendereze kuba bagenda kudda na nkuba mpya baddemu okuwangula emipiira gyabwe.

ManU yakubiddwa Arsenal (2-0) mu gwe baasembyeyo mu Premier sso nga ne mu FA Cup, baakubiddwa Wolves (2-1), wano abatawagira ManU we basinzidde okugamba nti batabani ba Ole Gunnar Solskjaer baweddemu.

Matic yategeezezza nti baakugenda mu maaso n’olutalo lwabwe olw’okulwanira ebifo ebina ebisooka lukyagenda mu maaso era Arsenal, Chelsea ne Spurs lukyagenda mu maaso.

 

ManU yaakutaano ku bubonero 58 mu mipiira 30 era erina kuwangula mipiira gyayo nga bw’esabirira Arsenal ne Spurs zisuule bw’eba yaakudda mu bifo ebina ebisooka.

“Obubonero buna bwokka bwe bwawula ali mu kyokusatu n’abali mu kyomukaaga. Tulina okulwana okulaba nga tumalira mu bana era abatuli waggulu, batwerinde,” Matic bwe yagambye n’agattako nti buli mupiira bagenda kuguzannya nga fayinolo.

Akalulu ka ‘quarter’ za Champions League, ManU kaagisudde ku Barcelona ekifudde emikisa gyayo okuyitamu okugenda ku semi emitono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.