TOP
  • Home
  • Rally
  • Baorland beefuze empaka za ddigi e Busiika

Baorland beefuze empaka za ddigi e Busiika

By Ismail Mulangwa

Added 18th March 2019

Aboolugnanda ba Orland baliisizza banaabwe enfuufu mu mpaka za ddigi eza laawundi eyookubiri e Busiika

Busiika4web 703x422

Abavuzi b'omutendera gwa MX65cc, Gift Ssebuguzi ne Alon Orland mwe battunkira, nga basimbula

 

Abasinze ku buli mutendera;

MX65cc

Alon Orland 60

Gift Sebuguzi 51

Kreidah Nsubuga 43

MX85cc

Stav Orland 60

Ali Waleed Omar 51

Jonathan Muhindo 41

MX125cc

Aviv Orland 57

Fortune Sentamu

Omar Wazir 45

ENDUULU n’emizira gyabuutikidde ekisaawe ky’e Busiika ku Ssande, nga Alon Orland aliisa Gift Ssebuguzi enfuufu, mu mpaka za ddigi eza  ‘Mountain Dew Motorcross Championship’. Empaka zaabadde za laawundi yaakubiri.

Abawagizi ba Ssebuguzi beeyiye ku kisaawe mu bungi okuwagira nnamba emu waabwe ng’alaga  Alon, bwe ba bavuganya ku ngule y’omwaka guno ku mutendera gwa MX65cc, enfuufu, kyokka bazzeeyo bali mu maziga oluvannyuma lw’okumeggebwa, ne belemesebwa okwongera ku buwanguzi bwe baafuna mu laawundi eyasooka mu January 2019.

Alon yakelembedde laawundi ssatu zonna ze beetoolodde ekisaawe,  n’afuna obubonero 60, sso nga Ssebuguzi, mu kyokubiri,  yakung’aanyizza  obubonero 51.

Ku mutendera gwa bakufulu (MX125cc),  Aviv Orland yawangudde Fortune Ssentamu ku bubonero 57 ku 54, ate Maxime Van Pee n’amegga Asaf Natan ne Anuwar Kabiito ku mutendera gwa MX1. Van Pee yafunye obubonero 60, ate Asaf mu kyokubiri n’afuna 51.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...