TOP

Owa Mbogo High awangudde eza Badminton

By Silvano Kibuuka

Added 18th March 2019

Omuyizi wa Mbogo High awangudde empaka za Badminton w'amasomero n'ategeeza nga bwakolerera egya Commonwealth

Badmintonweb 703x422

Kapiteeni wa Mbogo High School mu Badminton, Tracy Naluwooza ne banne nga bakwasiddwa ekikopo

Tracy Naluwooza,  omuyizi wa Mbogo High agambye nti obukodyo bwe yayize mu mpaka za Uganda International mu February, bwamuyambye okweddiza obwannantameggwa bw’empaka za Taibah International Schools Badminton Championships. Empaka zino zimaze  ennaku ssatu mu MTN Arena e Lugogo.

Naluwooza, asoma mu S2, era agambye nti kati ayagala kuzimba kirooto kye eky’okuzannyira Uganda mu mizannyo gya Commonwealth ne Olympics.

“Fadilah Shamika tambeeredde mwangu, yankubako mu 2017 naye omwaka oguwedde ne guno mmuwangudde nga nkozesa obukodyo bwe nafunye mu za Uganda International n’omutendesi William Kabindi. Tukyalina okukola ennyo okutuuka mu Olympics  ne Commonwealth  kubanga Uganda omutindo gukyali wansi nnyo”, Naluwooza bwe yategeezezza.

Mu mpaka zino ezeetabiddwamu abazannyi 370 okuva mu masomero 34, Naluwooza yakubye Fadilah Shamika mu b’emyaka 15 ne 19, sso nga mu balenzi ab’emyaka 19, Muzafar Lubega (Kakungulu Memorial) yakubye Augustus Owiny owa Kibuli SSS, ate Samuel Wasswa owa Kibuli n’awangula  Paul Makande owa Kakungulu, mu b’emyaka 15.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...