TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Uganda ewangudde emidaali munaana e Dubai

Uganda ewangudde emidaali munaana e Dubai

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Munnayuganda omuddusi azzeemu okuwangula omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya Special Olympics e Dubai

Abawuziweb 703x422

Elimu (ku kkono), maama wa Feni omuto, Feni, Nakitende, Eizabeth ne Agenorwoth

LAURIAN LUBULWA, DUBAI

ZAABU

Jacent Nyamahunge - mmita 200  (Emisinde)

Jacent Nyamahunge - mmita 100 (Emisinde) 

Larry Feni - Mmita 25 (Okuwuga)

Rogger Agenorwoth - Open Water (Okuwuga)

FEEZA

Larry Feni - Mmita 50 (Okuwuga)

EGY'EKIKOMO 

Elizabeth Nicole - Mmita 50 (Okuwuga)

Gorret Nakitende - Mmita 25 (Okuwuga)

Brian Elimu - Mmita 25 (Okuwuga)

NGA bwe kyali mu mwaka 2015 mu kibuga Los Angeles mu Amerika,   ku Mmande, omuddusi  Jacent Nyamahunge yafundikidde emizannyo gya  ’ Special Olympics World Games’ n'emidaali gya zaabu ebiri.

Nyamahunge omudaali  ogwokubiri yaguwangudde mu misinde gya mmita 100 gye yaddukidde mu sikonda 12.19. Yawangudde  Johannah Mogale, enzaalwa y’e South Afrika, eyaddukidde sikonda 13.70 ne Ana Sanchez owa Nicaragua eyaddukidde sikonda 16.73.

Battunkidde mu kisaawe kya Dubai Police Club, mu kibuga Dubai mu United Arab Emirates. 

Mu kuwuga, abazannyi ba Uganda ku Mmande lwe baafundikidde empaka zaabwe mu mitendera egy’enjawulo nga bamazeeko n'emidaali mukaaga.  Larry Feni, 16, yawangudde zaabu mu mita 25 eza breaststroke, n'afuna omudaali gwe ogwokubiri mu mizannyo gino. Ogwasooka gwali gwa feeza nga yaguwangula ku Lwamukaaga mu mutendera gwa freestyle ogwa mmita 50. 

 yamahunge Nyamahunge

 

Abalala abaawangudde emidaali kuliko Rogger Agenorwoth (zaabu mu kuwugira mu nnyanja mu mmita 1500). Brian Elimu ne Gorret Nakitende ab’emyaka 17, abaawangudde feeza mu mutendera gwa breaststroke ogwa mmita 25. 

Wabula Uganda  yasubiddwa omudaali mu mupiira gw’abakazi  bwe yalemeddwa okumalira mu bifo ebisatu ebisooka. Yalemaganye ne Buyindi ggoolo 1-1 mu mupiira ogwasembyeyo mu kibinja  ekyokubiri. 

Aba Volleyball ku Lwokubiri lwe bakomawo mu nsiike mu lutalo lw'okuwangula omudaali gwa zaabu mu kibinja  ekisooka. Egenda kuzannya ne Indonesia mu  nsisinkano eyookusatu ng'ezaasoose, buli ludda lwawangudde lunnaalwo. 

Abazannyi abasukka mu 7,500 okuva mu mawanga 195 be bavuganya mu mizannyo egy’enjawulo 24, mu kibuga Abu Dhabi  ne Dubai.

Emizannyo gikomekkerezebwa ku Lwakuna. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...