TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Kabushenga akunze abantu okwewandiisa beetabe mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka

Kabushenga akunze abantu okwewandiisa beetabe mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka

By Benjamin Ssebaggala

Added 19th March 2019

AKULIRA Vision Group efulumya ne Bukedde, Robert Kabushenga alangiridde nti okutunda emijoozi gy’emisinde gya Kabaka kutandise leero ku Lwokusatu.

Dcm9929 703x422

Kabushenga ng'ayogerera ku Leediyo ya Bukedde Fa Ma Embuutikizi ku pulogulaamu y'Ekyenkya

Kabushenga yabadde ku Bukedde FaMa mu pulogulamu Bukeddebutya ekolebwa Ssuuna Ben ne Kayibanda n’alangirira nti nga bwe batongozezza okutunda emijoozi gino, omuntu asobola okugifuna ku kitebe kya Vision Group, ku kitebe kya Post Bank ku Nkurumah road, ku Bulange e Mmengo ne ku maduuka ga Airtel gonna okwetoloola eggwanga.

Abaagala okuwagira emisinde nga tebali mu Uganda ng’abo abali e South Africa, Dubai ne Bungereza basobola bulungi okuweereza sente ne bagulira abantu baabwe emijoozi okusobola okwetaba mu misinde gino egigenda okubeerawo nga April 7, 2019.

Kabaka yazzeemu okulonda Kabushenga okukulira enteekateeka z’okutegeka emisinde gy’okukusa amazaalibwa ga Kabaka ng’aweza emyaka 64. Kabaka agenda kusimbula emisinde gino okuva mu Lubiri e Mmengo ku lwa April 7.

Kabushenga yategeezezza nti omulimu gw’okutegeka emisinde gino gukolebwa abantu ab’enjawulo mu ngeri ya Bwannakyewa era sente ezivaamu ziweerezebwa ew’omuwanika e Mmengo ne basalawo omutemwa ogugenda okuweebwayo okudduukirira abalina obulwadde obwa nnalubiri.

Yakubirizza abalina sente nga tebasobola kudduka baweeyo basobole okugula emijoozi kubanga bangi abasobola okudduka nga gye bali naye nga tebalina sente zigula mijoozi. Yagambye nti Bukedde ne cbs bavunaanyizibwa ku kulanga misinde gino kyokka abataddemu sente kuliko Vision Group efulumya Bukedde ,Airtel, Post Bank.

Kabushenga yagambye nti omuntu agula omujoozi ku 10,000/- bagumuweera mu kasawo nga mulimu n’akacupa akookunyweramu amazzi. Ennaku ezimu ekimotoka kigenda kutambula nga kitalaaga ebitundu eby’enjawulo nga kitunda emijoozi gino n’okutegeeza abantu enteekateeka endala ezikwata ku misinde gy’amazaalibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Naki 220x290

Grace Nakimera akomyewo na maanyi...

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...