TOP

ManU esattira lwa buvune bwa Lukaku ne Luke Shaw

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2019

Okuva Solskjaer lwe yajja, Lukaku y'omu ku bazannyi ababadde bezzizza obuggya ne bayamba ttiimu okuwangula.

Lukaku 703x422

Lukaku omuteebi wa ManU abasattiza olw'obuvune..

Enkambi ya ManU eri mu kasattiro okulaba ng’omuteebi waayo, Romelu Lukaku awona mu kaseera nga bagenda kuttunka ne Watford mu gwa Premier.

Lukaku yasubiddwa ogwa FA Cup bwe baabadde bakubwa Wolves ggoolo 2-1 olw’akagere akamuluma era bwe yagenze ku y’eggwanga eya Belgium ku Mmande ne bamusindika mu sikaani bongere okumwetegereza.

Oluvannyuma lw’emipiira gya ttiimu gy’amawanga, ManU erina emipiira emizibu okuli ogwa Watford, Man City n’emirala era omutendesi Ole Gunnar Solskjaer atuuyana zikala okulaba ng’omuzannyi we ono awona mu budde

Okuva Solskjaer lwe yajja, omutindo gwa Lukaku gubadde musuffu era ng’ateebye ggoolo mukaaga mu mipiira ena egisembye.

ManU ekubiddwa emipiira ebiri egisembye okuli ogwa Premier bwe baakubiddwa Arsenal (2-0) ssaako ogwa Wolves gwe yabakubye (2-1) mu FA Cup.

Wano Solskjaer w’ayagala okutandikira okuzza ttiimu ku maapu yeewale okusubwa okumalira mu bana abasooka.

Mu ngeri y’emu, Luke Shaw naye yavudde ku ttiimu ya Bungereza egenda okwambalagana ne  Czech Republic lwa buvune.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana