TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Gomba ereese Omuzungu agiyambe okuwangula Amasaza

Gomba ereese Omuzungu agiyambe okuwangula Amasaza

By Gerald Kikulwe

Added 24th March 2019

Essaza lya Gomba likansizza omutendesi Omuzungu aliyambe okuwangula ekikopo ky'Amasaza omulundi ogwokutaano

Gombaweb 703x422

Kabugo (ku kkono), ne Flavia Namulindwa owa Bukedde TV (ku ddyo) nga bayanjula Selli

Essaza ly’e Gomba likanzizza omutendesi Omuzungu, Omer Selli, aliyambe okuwangula ekikopo ky’Amasaza omwaka guno.

Selli 29, enzaalwa y’e Butuluuki, yaweereddwa endagaano ya sizoni emu, n’ekigendererwa eky’okubanaazaako amaziga g’okuwandukira ku ‘quarter’ sizoni ewedde, Busujju bwe yabakuba 2-0.

Mansoor Kabugo, Ssentebe w’essaza  lino yagambye nti  baaleese Selli kuba ategeera bulungi omupiira gwa Uganda, alina obumanyirivu mu kutendeka, sso ng’era baagadde n’okussaawo ekyafaayo ky’essaza erisoose okutwala ekikopo wansi w’omutendesi omugwiira.

“Gomba nga bulijjo tutandikawo ebintu abalala ne bakoppa. Sizoni eno tuzze na nkuba mpya okuzza Essaza ku ntikko era abanaalyang’anga beesibe bbiri,” Kabugo bwe yaweze.

Selli yagambye nti amaze ekiseera ng’asoma omupiira gwa Uganda kuba atendeseeko  ttiimu ya KJT, essomero lya Turkish Light Academy ne Galaxy Internationa,l ekimuyambye okufuna obumanyirivu .

Gomba ly’essaza erikyasinze okuwangula ekikopo kino  mu byafaayo. Lyakiwangula mu 2004, 2009, 2014 ne 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be