TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttiimu za CECAFA ziri mu kintu mu za Afrika

Ttiimu za CECAFA ziri mu kintu mu za Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2019

Uganda yasemba okukola obulungi mu mpaka za Afrika mu 1978 lwe yatuuka ku fayinolo mu mpaka ezaali e Ghana.

2016ugandavmaliochaya1 703x422

Joseph Ochaya owa Cranes (ku ddyo) ng'attunka n'abazannyi ba Mali.

Nga gwe mulundi ogusoose mu byafaayo ligyoni ya CECAFA yaakuyisaawo eyisizzaamu ttiimu esoba mu emu mu mpaka za Afrika nga ku mirundi emirala bwe kibadde kibeera.

Mu mpaka zino ezigenda okubumbujjira mu Misiri wakati wa June 21 – July 19, Burundi, Kenya ne Uganda zaayiseemu dda sso nga Tanzania erina omukisa leero (Ssande) nayo okuyitamu.

Battunka ne Uganda mu mupiira ogusembayo nga Tanzania erina okuguwangula nga bw’esabirira Lesotho ne Cape Verde balemagane oba Cape Verde ewangule.

 kikopo kya frika kye balwanira Ekikopo kya Afrika kye balwanira.

 

Uganda ly’eggwanga eribadde likyasembyeyo okukiikirira CECAFA mu mpaka za Afrika mu 2017 e Gabon mwe litaava mu kibinja.

Burundi egendayo mulundi gwayo gusoose bukya yeegatta ku CAF ne FIFA sso nga Kenya yasemba kuzizannya mu 2004 ezaali e Tunisia.

Ku mulundi ogwo, Ghana teyava mu kibinja era yaakulwana okulaba nga ku mulundi guno ekola okusingawo.

Mu ngeri y'emu, Uganda yatuuka ku fayinolo y'empaka zino mu 1978 mu mpaka ezaali e Ghana bwe yakubwa bannyinimu ggoolo 2-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...