TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Leicester esabye ManU obuwanana bw'ensimbi

Leicester esabye ManU obuwanana bw'ensimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Leicester eyagala obukadde bwa pawundi 90 mu muzibizi waayo Maguire.

Miguiere22 703x422

Maguire

LEICESTER teyeesiseemu ng'esaba ManU obuwanana bw'ensimbi bw'eba yaakugiguza omuzibizi waayo.


ManU eperereza Harry Maguire ng'ono agucangira mu Leicester kyokka nga mu World Cup ewedde, yakolera Bungereza eby'amagero n'etuuka ne ku semi.


Olwa ffoomu ennungi gye yayolesa, ManU yayagala okumugula mu Leciester eyalabuka amangu n'emuwa endagaano emukuumira mu Leicester okutuusa mu 2023. Kino tekyayigudde ManU ttama, eyazzeeyo okwefunira omuzibizi ono ng'era y'omu ku basinga ensangi zino.


Kyokka Leicester eringa ezannya kiremya anti esabye obukadde bwa pawundi 90 okuva mu ManU emubaguze. Ensimbi zino, ziba zimenyawo eza Liverpool ze yasasula ng'egula Virgil van Dijk (obukadde bwa pawundi 75) nga kati ye muzibizi esinga ebbeeyi mu Premier.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...